TOWN council empya ey'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga efunye enguudo za kkolaasi za kkiromita mukaaga.
Enteekateeka eno ey'okukuba kkolaasi etongozeddwa omubaka wa Ntenjeru North mu palamenti Amos Lugoloobi era nga omulimu gutandikiddewo.
Lugoloobi era nga yeyasakidde ab'e Busaana enguudo zino agambye nti gavumenti nga eyita mu minisitule y'ebyentambula n'emirimu (works) y'etadde ssente mu kukuba kkolaasi enguudo zino nga omulimu gwakuwemmenta obuwumbi busatu n'okusobamu.
Lugoloobi agambye nti baakukozesa tekinologiya omupya owa "Low cost sealing" era nga gavumenti emwettanidde olw'okwagala okumalawo ekizibu ky'enfuufu n'okukendeeza ssente gavumenti z'esasanya omukola enguudo z'ettaka ezonooneka amangu kumpi buli sizoni y'enkuba.
Lugoloobi agambye nti ekimusobozesezza okusakira ab'e Kayunga pulojekiti ezibalirirwa mu buwumbi bw'ensimbi omuli ez'amassomero, enguudo, amasanyalaze n'amalwaliro kye ky'okuba nti alina obumu ne bakulembeze banne ku mitendera emirala.
Ssentebe wa disitulikiti y'e Kayunga Tom Sserwanga agambye nti okwelumaluma mu bakulembeze kwekubadde kukuumidde Kayunga emabega wabula mu kisanja kye akoledde wamu ne banne era enkaayana zaakendeera.
Source