Thursday, July 16, 2020

Eyakubira Besigye oluyimba agenze wa Bobi Wine

Eyakubira Besigye oluyimba agenze wa Bobi Wine






Mulwana eggulo yazze ku ofiisi za People Power n'aggyayo empapula ezimukkiriza okuvuganya ku bwakkansala bwa KCCA ng'akiikirira Kibuye 1, Kibuye 2, Makindye 1 ne Makindye 2.

Yagambye nti ye wadde wa FDC naye yasazeewo okwegatta ku kisinde kya People Power kuba enkyukakyuka ze baagala , Bobi Wine yekka y'asobola okuzibatuusaako.

Wakayima Musoke (DP) naye yaggyeyo empapula ezimukkiriza okuvuganya e Nansana munisipaali asobole okudda mu kifo mwe yali. Yategeezezzza nti amaze okutereeza byonna ebyamujjisa mu Palamenti n'awera nti wadde yawangulira waggulu kyokka aka 2021 waakukeeza lweyo.

Omuyimbi Sadat Mukiibi amanyiddwa nga Khalifa Aganaga yaggyeeyo empapula z'okuvuganya ku bubaka bwa Lubaga South. Yaweze nti ekifo kino okuva Kato Lubwama lwe yakiyingiramu kyafuuka kya bayimbi era bwe yalabye nga aliyo yava ku bantu n'asalawo amusikire.

Siraje Kizito Nkugwa, eyali ssentebe wa disitulikiti y'e Kiboga yaggyeeyo empapula avuganya e Kiboga East asiguukulule Dr. Keefa Kiwanuka. Yali wa NRM n'agivaamu nga takyagitegeera byekola.

Veronica Nanyondo (DP) omubaka omukazi owa Bukomansimbi naye yaggyeeyo empapula ng'ayagala kuvuganya ku kifo kye kimu ky'abaddemu.

Muhammad Ssegirinya, kkansala wa Lubaga North ku KCCA ayagala kuvuganya Kawempe North awali Latif Ssebaggala. John Buwembo amanyiddwa nga Chris Johns ayagala bwammeeya bwa Luweero Town Council.

Hassan Nsubuga agenda Kassanda South bavuganye ne Simeo Nsubuga era yaweze nga bw'atagenda kumulabya ku njuba. Munnamawulire Deo Ganyana naye yaggyeeyo empapula ng'ayagala kukiikirira muluka gw'e Kanyanya ku munisipaali y'e Nansana.

Umar Magala, ow'akakiiko k'ebyokulonda aka People Power yagambye nti okuggyayo empapula z'abaagala ebifo eby'enjawulo kukoma Lwakutaano lwa wiiki eno. Abantu abawera 396 we bwazibidde eggulo nga be baakazzaayo empapula z'okuvuganya ku bubaka bwa Palamenti okwetooloola eggwanga.

Sadat Mukiibi yatuukidde ku bodabboda ku kitebe kya People Power okuggyayo empapula ze.

ENKAMBI YA MUNTU EBUGUMYE

Enkambi ya Mugisha Muntu yabugumye bwe baafunye eyali minisita w'ensonga z'abaana, Sarah Kiyingi Kyama n'omumyuka wa Sipiika wa munisipaali y'e Makindye, Aisha Nabasirye.

Baayanjuddwa eggulo ku ofiisi z'ekibiina kya ANT ezisangibwa ku Buganda Road. Muntu yasanyukidde abaamwegasseeko kuba balabye obukulu bw'okununula eggwanga. Yagasseeko nti akkiririza mu kwegatta kw'ab'oludda oluvuganya naye si mwetegefu kwegatta n'abantu balowooza nti be balina okwegattibwako.

LWAKI WINNIE KIIZA AVUDDE MU BY'OBUFUZI

Winnie Kiiza, omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Kasese yeewunyisizza bangi bwe yalangiridde nga bw'atagenda kuddamu kwesimbawo ku kifo kya byabufuzi kyonna.

Yagambye nti emyaka 22 gy'amaze mu byobufuzi ebisanja bisatu nga mubaka wa Palamenti gimala ng'essanyu asigadde kulifuna mu kuwagira muntu agenda okumuddira mu bigere.

Kiiza yeebazizza Dr. Kiiza Besigye ne Mugisha Muntu olw'ebyo bye bamukoledde. Yeebazizza ne bba, Yokasi Bwambale Bihande eyaliko omubaka wa Bukonzo East olw'okumubeererawo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts