Akakiiko akaalayiziddwa mu maka g'obwa Pulezidenti e Ntebe kakulirwa Dr Roselyn Karugonjo ng'amyukibwa eyali minisita Asuman Kiyingi. Abalala kuliko; Jane Arume, Didas Bakunzi ne Joyce Nalunga.
Akakiiko kagenda kukola ku nsonga z'abakungu ba gavumenti abagaana okulangirira eby'obuggagga bwabwe ewa Kaliisoliiso wa gavumenti. Era ke kagenda okusalawo eky'enkomerero ku kiki ekirina okukolerwa agaanyi okulangirira eby'obuggagga bwe,okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa amaka g'obwa pulezidenti.
Museveni yagambye nti okussaawo akakiiko kano kye kimu ku bikoleddwa gavumenti okulwanyisa abakozi ba gavumenti abali b'enguzi.Yagambye nti olw'okuba obuzzi bw'emisango bugazi, gavumenti yasalawo okusaawo ofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti okuyamba ku poliisi okulwanyisa abalya enguzi.
Yagambye nti akakiiko kagenda kuyamba okugogola gavumenti nga kaggyamu abakozi abali b'enguzi. Yategeezezza nti akakiiko kagenda kukola ku kulongoosa n'obukulembeze obubi obw'engeri endala ng'oggyeeko obuli bw'enguzi.
Yagambye nti okussaawo obukiiko obulwanyisa enguzi obungi kiyamba mu kwongera okulwanyisa omuze guno. Kyokka yasabye ab'akakiiko kano okufunanga amawulire ku bali b'enguzi okuva mu bantu abatuufu.
Akolanga Ssabalamuzi Owiny Dollo yagambye nti okussibwawo kw'akakiiko kabonero akalaga nti Pulezidenti ayagala abali mu bifo by'obukulembeze okweyisa obulungi.