Wiiki ewedde NCS yayita abakungu ba MAU ne FMU okusala entotto ku butya ababiri bano bwe basobola okusigala nga bafuna obuyambi okuva eri NCS era gye bawunzikira ng'aba MAU basabiddwa okukola okusalawo oba basigala wansi wa FMU oba okweyawula.
Aba MAU baalemererwa okuwa ensalawo yaabwe ne bajuliza nga bwe balina okuddayo bongere okwebuuza ku bazadde b'abaana ababonga ddigi mu kibiina kino era wano NCS yabawa nsalessale wa Mmande July 20, 2020 okuleeta okusalawo kw'abwe.
Tito Kayigwa omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS agamba nti n'okutuuka leero MAU tennaba kukola ku nsonga eno kyokka tetutte buvunaanyizibwa kubategeeza kiddako, ekitandise okubalowoozesa nti baanyoomodde ekiragiro oba oli awo nga si beetegefu kuddamu kukwatagana na FMU.
"Essanyu lyaffe kwe kulaba ng'ebibiina by'emizannyo byonna bikwatagana ate nga bigoberera amateeka ga Gavumenti naffe okusobola okubisakira obuyambi, wabula MAU erabika ekulemberwa ba kiwagi, era tubawadde wiiki eno nga batuzzeemu, bwe balemererwa tugenda kukola okusalawo kwaffe," Kayigwa bwe yategeezezza Bukedde.
MAU KY'EGAMBA
Peter Ndiwalana omwogezi w'ekibiina kya MAU agamba nti sibeetegefu kutwalayo kusalawo kwabwe kati okuleka nga NCS etadde mu buwandiike ebyo by'eyagala bbo(MAU) bakole era okuyita mu buwandiike obwo, kwe bajja okusinziira okulaba ebyo ebibakolera n'ebitabakolera.
"Ffe buli kyetukole ne NCS tukiteeka mu buwandiike, lwaki bbo batugambisa mimwa, tukyalina okutuula n'abazadde okulaba kiki ekiddako naye twagala NCS etuwandiikire.