Friday, July 24, 2020

Nkomawo mu 2021 - Sekandi

Nkomawo mu 2021 - Sekandi

OMUMYUKA wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi alangiridde bw'akomawo okwesimbawo okwongera okukiikirira ekitundu kya Bukoto Central mu Palamenti. Sekandi y'abadde akiikirira ekitundu kino okuva mu 1994. Yasinzidde ku kyalo Buna mu ggombolola y'e Kyannamukaaka mu disitulikiti y'e Masaka n'akakasa abawagizi be nti akyaliwo nnyo era akomawo mu kalulu ka 2021 okubakiikirira mu Palamenti. Yabadde atongoza enteekateeka ya gavumenti ey'okugabira abakadde ensimbi mu nkola y'okubayambako okwebeezaawo nga beetuusaako bye beetaaga mu bulamu obwa bulijjo. Yagambye nti newankubadde akuze naye kati awulira amaanyi gamweyongera nga tayinza kulekera awo kukiikirira bantu be.

Yanokoddeyo ebimu ku by'akoze omuli okusaka amasannyalaze agaatalaaga essaza lino, enguudo n'obuyambi bw'azze awa abantu mu kiseera kino ekyomuggalo. Yabasuubizza nti n'ebyo ebikya-basoomooza ajja kubimalawo. Bwe yabadde atongoza okugabira abakadde ensimbi, yasabye ababalabirira obutazibulankanya wabula bazeeyambise okubatuusaako ebyetaago naddala obujjanjabi. RDC Herman Ssentongo yakubirizza abali mu nteekateeka eno okubeera abeerufu nga bagaba ensimbi zino okutuukiriza ebigendererwa bya Gavumenti ku nteekateeka eno.

Akulira abakozi mu disitulikiti y'e Masaka, Nathan Lujumwa yagambye nti enteekateeka eno yalina kutandika mu January kyokka olwa Corona ne yeesibamu. Abakadde 2,253 be bagenda okufuna ku nsimbi zino ng'otwaliddemu n'ekibuga Masaka nga bonna balina okubeera n'emyaka 80 okudda waggulu nga balina ne densite. Ssentebe w'ekyalo kino, Charles Malinzi yategeezezza nti si kya bwenkanya okulekayo ab'emyaka 65 ne batandikira ku 80 kubanga na bano babeera bakaddiye nga tebakyasobola kweyimirizaawo.Kyokka abakadde abawerako baakonkomadde olw'okummibwa ssente zino olw'obutaba na densite n'abatannaweza myaka 80.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts