Friday, July 31, 2020

Okusaala mu muzikiti gwa Kampalamukadde kubadde 'Scientific'

Okusaala mu muzikiti gwa Kampalamukadde kubadde 'Scientific'

ABAKULEMBEZE ab'oku ntikko bokka ku lukiiko olufuga ekitebe ky'Obusiramu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council beebakiriziddwa okwetaba mu kusaala Idd y'okusala ebisolo.

Bangi ku basiraamu ababadde baagala okuyingira basaale baagaaniddwa era obwedda geeti eriko abaserikale abaabadde batakiriza bantu kuyingira.

Omumyuuka wa Muft asooka Sheik  Abdallah Ssemambo yaakulembeddemu okusaala Idd ng'ayambibwaako omumyuuka wa Muft ow'okubiri Sheik Mohamed Ali Waisswa. Abalala abakulu ababaddewo kuliko Ssentebe wa UMSC Sheik Abdul Kalid Balonde, omuwandiisi Ramathan Mugalu naabalala.

Muft. Wa Uganda Sheik Ramathan Mubajje teyagenda mu luwumula kyokka yasindise obubaka obusiima Gavumenti okulwanyisa ssenyiga omukambwe . Yasabye abantu ekusa ekitibwa mu balala nga beewala ebikolwa ebibalumya .

Ate ssaabawandiisi Ramathan Mugalu yeemulugunyizza nti Bank enkulu ekyagaanye okukiriza banka y'obusiraamu okutandika okukola ate nga Palamenti n'ebikulu byonna ebyetaagisa okugitandika byatuukirizibwa.

Ku byobufuzi yagambye nti bawagira abavubuka okwetaba mu by'obufuzi byokuvuganya kyokka  tebakiriziganya na bakola ffujjo n'okutyoboola abakulembeze abatali bamu. Yagambye nti baagala eggwanga eririmu emirembe era buli muntu yenna gyaali yettanire emirembe.

Ssentebe wa UMSC Abdul Kalid Balonde yasabye amawanga ga Buwarabu omuli Soud Arabia, Libya , Egypt n'amalala agalimu entalo gabeere ekyokulabirako mu kuteesa n'okuzza emirembe mu bannansi kubanga ettemu eririmu okutirimbula abakyaala n'abaana tewali asobola kuligumiikiriza.

Muft Abdallah Ssemambo yakubirizza abantu okusala ebisolo kubanga kujjuddemu empeera era abalina bayambe okuwa ku bannabwe abatalina.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts