Monday, July 6, 2020

UNRA bataddewo amaato okusomosa abantu ku lutindo olwagwamu amazzi ne ganjaala

UNRA bataddewo amaato okusomosa abantu ku lutindo olwagwamu amazzi ne ganjaala






Oluguudo lwabomoka amazzi ne ganjaala mu Kisenyi kya Kkanda era ebiddka tebikyayita okujjako amaato.

Omubaka w'essaza Bbaale mu palamenti George Wilson Nsamba Kumama gyebuvuddeko yatuukako mu kitundu kya Kkanda era abatuuze ne bamukaabi ebizibu bye basanze okuva lw'amazzi okubasalako nga enyanja Kyoga ebooze.

Kumama yagambye nti yagenze mu UNRA era abakulu kwekuwereza eryato kubanga abasuubuzi baabadde baateekawo amaato gaabwe nga basolooza ku bantu 500/- n'abagenda mu nnimiro.

Emiruka ebiri gyakoseddwa nnyo era abantu babadde badduka mu maka gaabwe bano nabo gavumenti yabasuubizza okubawa amatundubaali bakole wema mwebasula.

Kumama yagambye nti bakyalinda amazzi gakendere UNRA eddemu etindire oluguudo lwa Kkanda emmotoka ziddemu okutambula.

Ne disitulikiti y'e Kayunga yawaddeyo eryato lya yingini lisaabaze abantu wabula lino abasaabaze bebaligulira amafuta.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts