Monday, July 27, 2020

UPDF FC ereese abasambi 8 omulundi gumu

UPDF FC ereese abasambi 8 omulundi gumu





Ssaka Mpiima(Proline FC) eyatendekako ttiimu y'essomero lya Dynamic SS n'Amasaza okuli;Kyaggwe wamu ne Mawokota, UPDF FC emugasse ku batendesi Steven Bogere ne Noah Babadi Kasule ababaddewo mu Big League.

Abazannyi kuliko; James Begesa ne Ibrahim Wamannah bazze ku buyazike okuva mu KCCA FC ku ndagaano ya sizoni emu. Abalala; Gadaffi Gadinho(Mbarara City FC),Tonny Kyamera(Express FC), Simon Mbaziira, John Ssemazzi(Rwanda),Juma Ssebadduka(Sun Rise) ne Ronnie Kisekka nabo batadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri.

Ashraf Miiro akulira emirimu mu UPDF FC akakasizza nga kati bwe batandise okwenyweza era nga bakyetaaga abazannyi abalala bangi kuba liigi gye bagendamu y'amaanyi nga yeetaaga okwetegeka ekimala.

"Liigi gye tugendamu tugitegeera bulungi kuba twali tugizannyeeko era y'ensonga lwaki tutandise okuleeta abasambi abalina obumanyirivu okuva mu ttiimu enene nga KCCA, Express n'endala era tukyayongerako," Miiro bwe yategeezezza.

Agattako nga bwe bongedde Ssaka Mpiima ku batendesi okuggumiza ekitongole eky'ebyekikugu era n'asazaamu envuuvuumo ezibadde zigamba nti Noah Babadi Kasule agobeddwa n'asikisibwa Mpiima.

"Wewaawo enkyukakyuka zibeerawo naye omutendesi Babadi Kasule waali mubujjuvu era tetumulinaako buzibu bwonna, naye tuleese Mpiima kuba tugenda kuba ne ttiimu ey'abali wansi w'emyaka 17, kale twetaaga abatendesi abawerako," Miiiro bwe yatangaazizza.

UPDF yayiseewo butereevu okuva mu kibinja kya Rwenzori ekya Big League bwe yakikulembedde n'obubonero 23 mu mipiira 11.

Liigi esuubirwa okutandika nga October 17 ssinga embeera y'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe edda mu nteeko.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts