Tuesday, August 25, 2020

Aba Lato bagaziyizza akatale: Kati batuuka e Ethiopia, Malawi ne South Sudan

Aba Lato bagaziyizza akatale: Kati batuuka e Ethiopia, Malawi ne South Sudan

Bijoy Varghese, maneja ow'oku ntikko ku Pearl Dairy Farms ategeezezza nti akatale akapya kaakuwa abalunzi n'abalina ffaamu omukisa okutunda amata gaabwe . "Okugaziwa kw'akatale ttoffaali ddene eri abalunzi n'abatunda amata mu Uganda. Nga Pearl Dairy kino kituwadde omukisa okutunda amata gaffe ag'omutindo eri akatale kano. Bijoy Varghese, maneja wa Pearl Dairy Farms Ltd Bijoy agamba nti kati ebyamaguzi bya Pearl Dairy products bibunye mu mawanga 8 ate nga bakyagaziya akatale era batunuulidde Algeria ng'eggwanga eriddako nga bayambibwako Gavumenti ya Uganda. Bijoy agamba nti ku ntandikwa bagenda kutwalayo yoghurt n'amata g'obuwunga n'agamba basoose kukola kunoonyereza ne bazuula nga bino ebyamaguzi bijja kukola bulungi. Aba Pearl Dairy Products amakanda baagasimba Mbarara awali ekkolero lyabwe ggaggadde erikola yoghurt, amata g'obuwunga, amata ag'okunywerawo aga instant full cream powdered milk wamu n'ago agalwawo okufa UHT milk, wamu n'ebintu ebirala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts