Yagambye nti Dr.Besigye abantu bamwogeredde nnyo ebigambo ebimulengezza n'okumumalamu amaanyi ate ng'abadde musajja nkwatangabo ku ludda lw'ebyobufuzi .
Yagambye nti alindiridde lunaku abakulembeze b'ebibiina by'obufuzi abagenda okwesimbawo lwebanatuula ne Pulezidenti Museveni bakubaganye ebirowoozo ku ngeri gyebagenda okukyuusa eggwanga lino ensi esalewo .
Yagambye nti abantu abali kuludda oluvuganya batandike okuwa abakulembeze ekitibwa n'okukomya okuboogerera ebigambo ebibamalamu amaanyi nga bwebakoze ku Dr. Besigye kati asazeewo okutuuka okubaviira nga munyiivu.
Yasabye bannabyabufuzi abateekateeka okwesimbawi naddala Robert Kyagulanyi ne banne bonna okutuula bateese kukukolera awamu n'okwegatta kubanga lino ekkubo ddungi nti omuntu baba basobola bulungi okusaka amaanyi ne bagoba pulezidenti Museveni.
Yagambye nti CP ne JEEMA ebitanaba kulangirira gwebagenda kusimbawo , beetegefu okwetaba mu nteseganya ezo era asaba beegate bafune avuganya omu asinga bonna amaanyi bonna gwebaba bawagira.
OKUVUGANYA;
Ken Lukyamuzi yagambye nti awalirizza okukomawo avuganye ku kifo ky'omubaka wa Lubaga South mu Palamenti kubanga ekitundu tekikyalimu muntu ayogera nagyayo ensonga eziruma abatuuze mu palamenti. " abantu babagoba ku ttaka , kkanisa bazimenya nga eya Ndeeba n'okunyigiriza kususse mu kitundu kyokka ensonga tezanjulwa mu palamenti" Lukyamuzi bwe yayombye.
Yeyogeddeko nti singa yaali mu palamenti eggwanga lyonna lyalitegedde era engeri ye gyateesa eyenjawulo , yamufunyisa n'engule mu palamenti ey'omusanvu . Yayogedde ku byeyakola ngaali mu palamenti omuli okulwanirira ettaka n'obutonde bwensi . Yanokoddeyo nti Gavumenti yali emaliridde okusendawo abatuuze b'eBusega Kibumbiro eyiseewo oluguudo lwa Northern Bypass kyokka n'agiremesa ne balukyuusa ne luyita mu kitoogo .
Nga yenna awera , yagambye nti yesimbyeewo akomyeewo ekitibwa kya Lubaga ku ntikko era yeewunya abavuddeyo okuvuganya kyokka nga tebamanyi wadde mulimu gwa mubaka wa palamenti.
EMIRIMU.
Yagambye nti omubaka alondebwa kukola mateeka , okutuusa ebizibu by'ekitundu mu Gavumenti, okulwanirira abatuuze obutanyigirizibwa nnyo mu nsasula y'emisolo n'okulondoola ssente z'omuwi w'omusolo oba ddala zikozesebwa bulungi.
"omubaka tagula ambulensi wabula awaliriza gavumenti okuzigulira abatuuze. Kyannaku abantu kati batambula bakokoonya balonzi mmotoka ezitali mu buyinza bwaabwe era kino nkiraba nga ejoogo eri abalonzi" Lukyamuzi bwe yagambye.
Yennyamidde nti akyaalina ekkonda kumutima ku ngeri omu ku bakulembeze gyeyakozesa emu ku leediyo n'alengezza famire ya lukyamuzi ate nga yali akyakola mateeka e Makerere era akakasa nti ebigambo ebyamwogererwa byebamuviirako okugwa mu kalulu akawedde era yamuggulako n'omusango kati bali mu kkooti.
Lukyamuzi yagambye nti ayagala bannalubaga South bakirize bamuwe ekisanja kimu kyokka addemu asitule eddoboozi ly'abalonzi nga bweyakola ngakyaali mu palamenti era agenda kukola buli ekisoboka okulaba nti awangula.