ABAKULIRA abasuubuzi b'omu Kikuubo bongedde amaanyi mu kukwasisa amateeka g'okulaba nga buli muntu ayingira e Kikuubo alina okubeera ng'ayambadde masiki gattako okunaaba mu ngalo.
"Omuntu yenna alina obuvunaanyizibwa lwaki tokimanyi nti okugaana okunaaba mu ngalo ng'oyingira ekifo nga Kikuubo omuli abantu abangi obeera oteeka obulamu bwo n'obwabalala mu katyabaga" Bwatyo omwogezi w'omu Kikuubo Sam Muyomba bweyategeezezza.
Yayongeddeko nti bo ng'abakulira abasuubuzi bakoze nnyo okulaba nga beerekeereza akassente kaffe ng'abantu ne tugula amazzi, sabuuni gattako okusasula abaana abatuyamba okukwasiza amateeka ku miryango naye naffe kitunyiga mu nsawo era tusaba abantu nabo bongere okufaayo ennyo ku bulamu bwabwe ssaako ne gavumenti okutukwatizaako.
Muyomba yasabye banannyini akeedi ezikola e Kikuubo nabo okwongeramu amaanyi okugula amazzi ne sabuuni abantu abaggya okugula mu maduuka gano ebintu bye balina okukozesa okwongera okwetaasa okulaba ng'akawuka ka Corona tekasaasana kubanga kino kiyinza okuviirako okuddamu okuggalawo ekibuga kyonna olw'obugayavu bw'abantu abamu.
Ye ssentebe wa Shauriyako owa LC 1, etwala n'e Kikuubo Bashir Muwonge yagambye nti bagenda kugenda mu maaso n'okuteekamu ssente zabwe okugula amazzi ne sabuuni bataase obulamu bwa bannayuganda obuttafa kawuka kano.