Monday, August 10, 2020

Akkakkanye ku jjajjaawe n'amusalako omutwe

Akkakkanye ku jjajjaawe n'amusalako omutwe





Kigambibwa nti Asiimwe, yasoose kukaayana ne jjajjaawe n'amutegeeza nti akuze n'ayagala okumulagaanyisa nti yaalimusikira bw'aliba afudde, asobole okutwala ekibanja n'ennyumba, si kulwa ng'abaana be babisikira.

Oluvannyuma lw'obutakkiriziganya, ku ssaawa nga 5:00 ez'ekiro, Asiimwe yalumbye jjajjaawe. Kigambibwa nti yasoose kumunyoola nsingo oluvannyuma n'amutemako omutwe n'agutwala ewa ssenga we nga tannamalamu musulo.

Felix Tumuhairwe, ssentebe w'ekyalo, yategeezezza nti Asiimwe abadde amaze akabanga ng'atiisatiisa jjajjaawe nga bw'ajja okumutta singa tamuwa kibanja n'ente mu mirembe era abatuuze n'abooluganda tebeewuunyizza kikolwa kye yakoze wadde nga ssentebe agamba nti abadde akozesa enjaga.

Paul Muhenda, akulira eby'okunoonyereza ku poliisi e Ibanda, yagambye nti banoonya Asiimwe nga kati aliira ku nsiko.

Omutwe gwa jjajjaawe gwasangiddwa ewa ssenga we eyabategeezezza nti yagumuleetedde n'amutegeeza nti asse jjajjaawe lwa kugaana kumusikiza byabugagga nga mulamu.

Poliisi yatutte omutwe n'ekiwuduwudu mu ddwaaliro e Ibanda. Emily Angomoku, aduumira poliisi e Ibanda, avumiridde ekikolwa kino n'asaba abatuuze okubeera abakkakkamu nga bwe bagenda mu maaso n'okuyigga Asiimwe avunaanibwe.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts