Sebamala asimbiddwa mu kkooti y'omulamuzi Ponisiano Odwori owa kkooti ento e Nakawa amusomedde omusango guno era n'amusindika ku limanda mu kkomera e Sentema okutuusa nga August,11,2020.
Okusinziira ku muwaabi wa gavumenti Florence Kataike kigambibwa nti nga December,01,2019 Sebamala yakozesa olukujjukujju n'afuna obukadde 150 okuva ku Mohammed Kalungi ng'agamba nti amuguza mmotoka Toyota Prado UBG 510G ky'atakola.
Sebamala omusango guno agwegaanyi, ng'ayita mu looya we Charles Nsubuga era asabye yeeyimirwe ku misango gino kyokka omulamuzi Odwori n'agaana okusaba kwe namutegeeza nga bw'abadde talina budde ng'alina gyabade alaga.
Amutegezeza nti abade tasobola kuwuliriza kusaba kwe mu budde obutono bw'abade nabwo.
Sebamala agambye nti emisango gino bagimuteekako kubanga yeesimbyewo okuvuganya Sekandi e Bukoto central.