Buli omu Mao yamuwadde ekifaananyi ky'omugenzi Benedicto Kiwanuka ng'ekirabo ky'okubasiima.
Wabula Lutamaguzi ye Mao amusiimye ak'ensusso bwe yamulonze okubeera Nampala w'ababaka ba DP mu palamenti, ekifo ekibaddemu Joseph Sewungu.
Yabageraageranyizza ku byaliwo ku mulembe gwa Ben Kiwanuka mu 1964, ekikolwa kye kimu bwe kyakolebwa, ababaka 20 bwe baayabulira DP n'esigaza mukaaga bokka, ekiseera kino be batwala ng'abazira.
Ababaka bano tebaabaddewo mu mukolo guno ogwabadde ku kitebe kya DP e Nakulabye, kyokka Mao yategeezezza nti aba Kyagulanyi babeesibyeeko ne bagaana, era be bazira abagenda okukola omusingi ogw'enjawulo DP ey'amaanyi mw'egenda okuva.