Wednesday, August 19, 2020

'Mulonde abakulembeze abanaabayamba okuva mu bwavu'

'Mulonde abakulembeze abanaabayamba okuva mu bwavu'





Akulira ekitogole kino ekirina ekitebe kyakyo e Nalukolongo mu Kampala, Mw. Swift Adam Mugabi agambye nti ekikyasibidde Bannayuganda mu bwavu butabaawo mateeka malambulukufu ku by'okulwanyisa obwavu.

"N'olwekyo nga mulonda ababaka ba palamenti mubateeke ku minzaani muleete abo abanabaga amateeka agakwata obutereevu ku kulwanyisa obwaavu," Mugabi bwe yagambye mu Lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya White army.

Yagambye nti amateeka ku kulwanyisa obwavu gateekwa okubeeramu obuwaayiro obukugira ebitongole ebiwola ensimbi okubinika amagoba ku beewoozi.

"Tukizudde nti amagoba ku beewozi gagende kwavuwaza Bannayuganda. Ababaka bammwe be munaalonda mu bakalaatire nti kifuuke tteeka okuwola abantu nga tekuli magoba, olwo eggwanga lijja kukula,"Mugabi bwe yategeezezza.

N'agattako nti ekibiina kyabwe ekya White Army kirina enkola y'okuwola abantu abali mu bwetaavu nga tebasabye magoba nti era batandikidde mu divisoni y'e Lubaga mu miruka okuli; Ndeeba, Kabowa n'awalala era abantu 1,000 baalondeddwa okufuna ensimbi.

Bannamukisa baatandikiddewo okuweebwa ensimbi era bafunye eziri wakati w'emitwaalo kkumi okutuuka ku kakadde kamu.

Okufuna ensimbi osooka kulaga pulaani y'okuzikozesa mu bizinesi gy'olina oba gy'ogenda okutandika.

Abasomesa abaakosebwa ennyo ekirwadde kya seenyiga ekikambwe, Covid19 olwokuggalawo amassomero be bamu ku baganyuddwa era bangi ku bano bategezezza nti bagenda kutandika obuduuuka obutonotono n'ebibanda by'amanda.

Okuzzaayo ssente kwa buli lunaku okumala omwaka mulamba nga waliwo abaasazeewo okusasula Shs.500 okutuusa lwe banamalayo ebbanja eritaliiko magoba.

Mugabi yagambye nti gavumenti ne bannakyewa abalala basaanidde okuyamba White army nga bagyongeramu ensimbi okutumbula omutindo gwa Bannayuganda.

"Abantu singa babeera baggaga, kiyamba gavumanti okwewala obusambattuko wamu n'okulwanyisa endwadde," Mugabi bwe yagambye.

Ekibiina kya White army, kyaggulawo mu 2019.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts