Tuesday, August 25, 2020

Mummy Annie akuzizza ssukkali era tayagala bavubuka bamuzannyirako

Mummy Annie akuzizza ssukkali era tayagala bavubuka bamuzannyirako





Wakati mu ssanyu ono naye yewaanye nti "okuzaala kujaagana, mulaba bwakuzizza omuwala era mu myaka mitono yeesunga kunywa ku ssukaali"

Akabaga kano akeetabiddwako Bannayuganda abawerako omwabadde mikwano gya Mummy Annie n'egya Angel kaabadde ku Tavan hotel e Massachusetts mu Amerika Annie kati gy'abeera ne muwala we.

Mummy Annie eyali akola pulogulaamu y'abaana ku Bukedde Tv n'okutegeka empaka za Miss Little Movit, yasiimye abantu abaamubeereddewo ne yeebaza ne Katonda amuwadde obulamu n'okumuyamba okukuza muwala we.

Kyokka mu ngeri ey'okusaaga waliwo obwedda abamukuba ‘olwali' ng'enjogera y'ennaku zino nga bwe bamugamba nti omuwala tumulabye akuze kati twagala musika ate abalala nti omwana omu tayala mu kika!.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts