Wiiki bbiri eziyise, Bukedde yafulumizza eggulire eriraga obutakkaanya obwabalukawo wakati wa Mutebi n'abamu ku bakungu ku boodi ya ttiimu, ng'entabwe eva ku kubaboggolera bwe baali bamusabye okubannyonnyola ku bikwata ku mbeera y'abazannyi.
Omu ku bakungu mu ttiimu eno, yategeezezza Bukedde nti ensonga eno baagituusizza ewa Loodi Meeya, Erias Lukwago n'olukiiko olufuga ekitongole kya KCCA, nga baagala Mutebi akangavvulwe.
"Twaswala nnyo mu maaso g'abakungu ba FUFA bwe baali bazze okuwayaamu ku nsonga ez'enjawulo, Mutebi n'atuboggolera ng'abaana abato. Alina okukimanya nti ffe bakama be, era tetugenda kumukkiriza kweyisa nga nnannyini ttiimu," omukungu omu ataayagadde kumwatuukiriza mannya, bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti simumativu n'engeri Mutebi gy'ayisaamu abazannyi abamu kuba buli lwe bafuuka bassita aba takyayagala kubazannyisa.
"Kumpi buli muzannyi ava mu ttiimu yaffe agenda akolima lwa mutendesi, kyokka nga yaatuka okubagula," omukungu bwe yagambye.
Loodi Meeya era nga ye muyima wa KCCA FC, yakasizza okufuna okwemulugunya kuno, n'agamba nti ensonga baazikwasizza minisita akulira ebyemizannyo mu kitongole, azinoonyerezeeko, n'oluvannyuma balabe ekiddako.
OMUTENDESI wa KCCA
FC, Mike mutebi Ali
wazibu, oluvannyuma
lwa bakama be
okumuloopa
nga bagamba
nti ayitirizza
okubayisaamu
amaaso.
Wiiki
bbiri eziyise,
Bukedde
yafulumizza
eggulire eriraga
obutakkaanya
obwabalukawo wakati
wa Mutebi n'abamu ku
bakungu ku boodi ya ttiimu,
ng'entabwe eva ku
kubaboggolera bwe baali
bamusabye okubannyonnyola
ku bikwata ku
mbeera y'abazannyi.
Omu ku bakungu mu
ttiimu eno, yategeezezza
Bukedde nti ensonga
eno baagituusizza ewa
Loodi Meeya, Erias Lukwago
n'olukiiko olufuga
ekitongole kya KCCA,
nga baagala Mutebi
akangavvulwe.
"Twaswala nnyo mu
maaso g'abakungu ba
FUFA bwe baali bazze
okuwayaamu ku
nsonga ez'enjawulo,
Mutebi n'atuboggolera
ng'abaana abato.Alina
okukimanya nti ffe bakama
be, era tetugenda
kumukkiriza kweyisa
nga nnannyini
ttiimu," omukungu
omu ataayagadde
kumwatuukiriza
mannya, bwe
yategeezezza.
Yayongeddeko
nti simumativu
n'engeri Mutebi
gy'ayisaamu abazannyi
abamu kuba buli lwe
bafuuka bassita aba takyayagala
kubazannyisa.
"Kumpi buli muzannyi
ava mu ttiimu yaffe
agenda akolima lwa
mutendesi, kyokka nga
yaatuka okubagula,"
omukungu bwe yagambye.
Loodi Meeya era nga
ye muyima wa KCCA
FC, yakasizza okufuna
okwemulugunya kuno,
n'agamba nti ensonga
baazikwasizza minisita
akulira ebyemizannyo
mu kitongole,
azinoonyerezeeko,
n'oluvannyuma balabe
ekiddako.