Kangave Fred abeera e Kasengejje ne Kyengera mu Wakiso disitulikiti yonna gyalina amaka agambye nti ekimuleese okuvuganya oky'omubaka Medard Ssegona kubanga ye olwatuuka mu buyinza neyerabira omuntu owawansi.
"Nze munnabwe nja kusobola okukikirira abantu bange ntuuse eddoboozi lyabwe. Obuyigirize obwetaagisa mbulina kubanga nafuna digili y'obusomesa okuva mu yunivasite ye Kyambogo." Kangave bwe yategezezza.
Musajja muntu wabantu era yamazeeko olwokusattu lwonna nga akyalira obutale mu Wakiso obwedda abasagizi be gye bamusondera ensimbi.
"Ono ye waffe era kampeyini ze okuziyimirizaawo tujja kwesondamu ensimbi ezinamuyamba okukuba ebipande ebipande nokukola emirimu emirara," Rose Namuli akolera ku katale ka Pepsi oluvanyuma namuwa 2,000/_