
GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri ne Police FC mu liigi ya babinywera.
Ku Lwokubiri July 28, 2020, Ikara yatadde omukono ku ndagaano ne Police FC n'awera okuzza omutindo kweyali mu sizoni ya 2017/18 ng'ali mu Kirinnya Jinja SS ogwawaliriza KCCA FC okumugula abakwatire mu mpaka za CAF Champions League.
Ikara abadde ku buyazike mu Mbarara City FC okuva mu KCCA FC sizoni ewedde wabula omwezi oguwedde KCCA FC yasazizzaamu endagaano ye olw'omutindo gwa kippa wa Cranes ne KCCA FC Charles Lukwago omulungi gw'aliko ogutajja kuganya Ikara kufuna nnamba.
Kino kyatanula Vipers SC bakyampiyoni ba liigi sizoni ewedde okulaga nga bwe baagala Ikara wamu ne URA FC nabo ne beesowolayo wabula bano bonna omusambi yabatadde ebbali ne yeegatta ku Police FC.
"Okwegatta ku Police natunuulidde obudde bwennyinza okufuna ku kisaawe, Vipers SC ne URA zonna ttiimu nnungi naye kati njagala kuzza mutindo gwange ngulu nsobole okudda ku ttiimu y'eggwanga, nakizudde nga kino kisoboka nga ndi ne Police FC," Ikara bwe yategeezezza.
Ikara mu sizoni emu gye yali ne KCCA FC yawangula ekikopo kya liigi ya babinywera kimu, CECAFA Kagame Cup ate n'afuuka ggoolokippa munnayuganda eyasooka okuzannya mu bibinja by'empaka za CAF Champions League.
sizoni ewedde yayambyeko Mbarara City FC okumalira mu kifo kya 7 n'obubonero 36.
Ono kati yeegasse ku Tonny Mawejje ne Hassa Mohammed Police FC beyaakaleeta nga beetegekera sizoni ejja 2020/21.
Source