Monday, August 31, 2020

Ssaabalabirizi Kazimba atuuzizza omumyuka wa cansala wa UCU omuggya

Ssaabalabirizi Kazimba atuuzizza omumyuka wa cansala wa UCU omuggya





Associate Polof. Aaron Mushengyezi ye yatuuziddwa ng'amyuka cansala wa UCU ow'okusatu ng'azze mu bigere bya Rev. Canon Dr. John Senyonyi.

Omukolo guno ogwabaddeko abantu ab'olubatu ku UCU e Mukono gwabadde mu Nkoyoyo hall nga gwatandise na kusaba.

Dr. Senyonyi oluvannyuma lw'okusaba ye yasoose okukwasa Ssaabalabirizi Ntagali ebikola omwabadde ne chata ya yunivasite eno olwo naye n'abikwasa Mushengyezi.

Mushengyezi nga ky'aggye atuuzibwe ng'omumyuka wa cansala yasuubizza ebintu bingi omuli okukyusa ebintu ebisinga ng'essira agenda kuliteeka ku kusoma kw'omutimbagano naddala mu mkiseera kino ng'amasomero gaggalwawo olw'ekirwadde kya sssenyiga omukambwe ekya COVID 19.

Wano yasiimye omumyukawe olw'amaanyi g'atadde mu nsonga z'okusoosowaza tekinologiya n'agamba nti ebbanga ddene Dr. Senyonyi enkiiko abadde azituuliza ku mutimbagano ng'abantu tekikyabeetaagisa kukungaana.

"Mu mbeera eyo, buli kyetaagisa okuli n'ebyuma eby'omulembe weebire. Era ntegeeza n'abayizi n'abazadde nti okusomesa ffe tugenda kuddamu nga tuyita ku mutimbagano kuba gavumenti yatukkiriza era okuva nga September 1, enteekateeka ezo zigenda kuggyibwako akawuuwo," bwe yannyonnyodde.

Ku nsonga y'omusaala omutono oguweebwa abasomesa mu yunivasite eno naddala abali ku ddaala ly'aba pulofeesa yagambye nti bano ayagala batuuke ku bukadde bw'ensimbi 15 nga bwe guli mu yunivasite za gavumenti olwo baleme kubaddukako nga banoonya emisaala emisava.

Yasuubizza n'okuteekawo ebintu ebivaamu ensimbi ave ku mulembe ogubaddewo okulaba nga yunivasite eva mu kutunuulira ensimbi eziva mu bisale ebisasulwa abayizi byokka.

Mushengyezi yanokoddeyo n'eky'okulaakulanya ettaka lya UCU eririko enkaayana e Ntaawo eriwezaako ssikweya mayiro nnamba nga lino ayagala balifuule ekibangirizi ky'amakolero kuba mu kukubaganya ebirowoozo n'abakulira ekibangirizi ky'amakolero eky'e Namanve baabategeezezza ng'eno ettaka eriweebwa ba yinvesita bwe libaweddeko.

Ye Ssenyonyi yakalaatidde Mushengyezi okufuba okukuuma obuntubulamu n'empisa mu woofiisi nga bw'akoze ng'ebbanga ery'emyaka 20 ly'amaze ku UCU tafunangako muyizi muwala amulumiriza nti yamuganza nga bwe guli yunivasite endala ng'abasomesa n'abazikulira babojjerera abayizi, tabbanga ku nsimbi za woofiisi, ssaako okuteekawo embeera esosola mu mawanga.

Ye abadde omukozesa wa Mushengyezi mu yunivasite e Makerere nga y'amyuka cansala, Prof. Barnabas Nawangwe yamutenderezza okuba omukozi omulungi. Nawangwe yagambye nti obutafaananako naye eyatuuzibwa munnabyabufuzi nga n'ebizibu bya byabufuzi, ye yatuuziddwa munnaddiini.

Ye Kaziimba yasabye Mushengyezi okutwala obudde yeebuuze ku Senyonyi gw'addidde mu bigere n'agamba nti ensangi zino abantu bangi basalawo okuteekawo emiziziko oba ebisenge ebiwanvu ebibaziyiza okukolagana n'abo be baba baddidde mu bigere ekitali kirungi.

Yasiimye Senyonyi olw'obuweereza bw'akoze obuyambye UCU okugenda mu maaso nga mu kiseera kino ye yunivasite y'obwannanyini enywa mu zinnaazo bwe bali mu kkowe eryo akendo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts