Tuesday, September 8, 2020

Abanene 100 bayabulidde Trump

Abanene 100 bayabulidde Trump





Abaali abawagizi b'ekibiina kya Republicans abawera 100 okuli n'eyali omuwabuzi wa Trump , Bill Weld wamu ne gavana w'e Michigan, Rick Snyder be beegasse ku Biden.

Bano beekozeemu ekibiina ekimanyiddwa nga ‘Republicans and Independents for Biden' era kyatongozeddwa ku Lwokuna. Okutongoza ekibiina kino kwaddiriddwa eyali gavana wa Michigan, Rick Snyder n'eyali gavana wa Massachusetts, Bill Weld nabo okwegatta ku b'ekibiina kya Democtrats abaagala Joe Biden alye entebe ya Trump.

Ekibiina kya ‘Republicans and Independents for Biden' kikulemberwa eyali gavana wa New Jersy, Christine Whitman era ng'ono y'omu ku basinga okwogerera Trump amafuukuule ensangi zino.

Ekibiina kigenda kukuba kampeyini n'okussa ebirango mu mawulire nga bawagira Biden. "Ebyogerwa Trump biraga nti yava dda ku mulamwa gw'entambuza y'ensi yaffe era kitussa mu katyabaga,'' akulira ekibiina bwe yategeezezza.

Snyder yagambve nti yali akolaganyeeko n'abakulembeze bombi era akakasa Biden y'asaanidde okutwala entebe y'Obwapulezidenti. Snyder yali gavana w'e Michigan okumala ebisanja bibiri.

Ekitundu kye Michigan kyakola kinene okuyamba Trump okujja mu buyinza. Snyder yawaanye Biden nti musajja akola by'ategeera nga tamala gapakuka wadde Trump agezaako okumusiiga enziro nti mubi nnyo.

Omukyala ono alumiriza Trump nti ayisa olugaayu mu mateeka agafuga Amerika, ayawuddemu Abamerika ng'asinziira ku langi z'emibiri gyabwe, asekeeterera ab'ebyokwerinda kwa Amerika era alemesa eggwanga okulwanyisa obulungi ssennyiga wa Corona.

EBYA Pulezidenti wa Amerika
Donald Trump okweddiza entebe
byongedde okubiggya abamu ku
baali abantu be ab'oku lusegere
mu kibiina kya Republicans
mw'ava bwe bamuvuddemu ne
batandika okuwagira amuvuganya,
Joe Biden.
Abaali abawagizi b'ekibiina kya
Republicans abawera 100 okuli
n'eyali omuwabuzi wa Trump ,
Bill Weld wamu ne gavana w'e
Michigan, Rick Snyder be beegasse
ku Biden.
Bano beekozeemu ekibiina
ekimanyiddwa nga ‘Republicans
and Independents for Biden' era
kyatongozeddwa ku Lwokuna.
Okutongoza ekibiina kino
kwaddiriddwa eyali gavana wa
Michigan, Rick Snyder n'eyali gavana
wa Massachusetts, Bill Weld
nabo okwegatta ku b'ekibiina
kya Democtrats abaagala Joe
Biden alye entebe ya Trump.
Ekibiina kya ‘Republicans and
Independents for Biden' kikulemberwa
eyali gavana wa New Jersy,
Christine Whitman era ng'ono
y'omu ku basinga okwogerera
Trump amafuukuule ensangi zino.
Ekibiina kigenda kukuba kampeyini
n'okussa ebirango mu mawulire
nga bawagira Biden.
"Ebyogerwa Trump biraga
nti yava dda ku mulamwa
gw'entambuza y'ensi yaffe era
kitussa mu katyabaga,'' akulira
ekibiina bwe yategeezezza.
Snyder yagambve nti yali
akolaganyeeko n'abakulembeze
bombi era akakasa Biden
y'asaanidde okutwala entebe
y'Obwapulezidenti.
Snyder yali gavana w'e Michigan
okumala ebisanja bibiri.
Ekitundu kye Michigan kyakola
kinene okuyamba Trump okujja
mu buyinza.
Snyder yawaanye Biden nti
musajja akola by'ategeera nga
tamala gapakuka wadde Trump
agezaako okumusiiga enziro nti
mubi nnyo.
Omukyala ono alumiriza Trump
nti ayisa olugaayu mu mateeka
agafuga Amerika, ayawuddemu
Abamerika ng'asinziira ku langi
z'emibiri gyabwe, asekeeterera
ab'ebyokwerinda kwa Amerika
era alemesa eggwanga okulwanyisa
obulungi ssennyiga wa
Corona.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts