Saturday, September 5, 2020

Akamyufu ka NRM e Lwengo kaabaddeko n'obugombe

Akamyufu ka NRM e Lwengo kaabaddeko n'obugombe

 Zaagenze okuwera ssaawa 6:30 ng'akulira eby'okulonda mu disitulikiti y'e Lwengo Abas Mubiru amaze okulangirira ebivudde mu kulonda.
Ku kifo ky'omubaka omukyala owa Lwengo olw'okaano lwabaddemu abantu babiri okuli Dr. Sarah Nkonge Muwonge n'omubaka Cissy Namujju Dionizia nga Namujju yaleebeesezza munne n'obululu 46,491 ate Dr Nkonge n'afuna obululu 28,474.
Ku kifo ky'omubaka omusajja owa Bukoto-south kibadde abantu babiri omubaka Hajji Muyanja Mbabaali ne Hajji Abdu Kiyimba, nga Hajji Kiyimba yasiguukuludde munne n'obululu 8,544 ate Hajji Mbabali nafuna obulu 5,547.
Ku kifo ky'omubaka omusajja owa Bukoto Midwest omubaka Joseph Muomba Kasozi yagudde akamyufu kano bwe yafunye obululu 12,611 n'asiguukululwa Isaac Ssejjoba Mayanja n'obululu 17,036.
Ku kifo kya Bukoto-West kwabadeko abantu mukaaga; Capt Mulindwa Birimaaso yafunye obululu 5147, Rashid Kawaawa n'afuna 4,128, Erioda Kaweesa 1,255, Perteson Ssafaal ne Dodoviiko abo beeronze bokka, omubaka Hajji Abdu Kitatta yafunye 4,024 bw'atyo musaayi muto Ahmed Muyanja Ssenteeyi n'awangula n'obululu 17,343.
HAJJI KIYIMBA 
Ono asekeredde ababadde bamusiiga enziro nga bagezaako okumwonoona erinnyalye nabasaba okwetereeza era neyebaza abalonzi abamutademu obwesige mu kamyufu kano ng'ate gwemulundi gwe ogusookedde ddala okwesimbawo mu lwengo.
ISAC SSEJJOBA MAYANJA
Ono yavuganyako ebisanja bibiri ku kifo kino nawangulwa kasozi Muyomba wabula mu kamyufu asobodde okumuddiza ekoode tonziriranga.Ssejjoba agambye nti abalonzi sibaana bato okumukomyawo balabye nga gwebaali bakwasa bendera y'ekibiina byebamutuma okubakolera ng'oluusi tabikoze nabasaba okumulabiranga ddala mu kalulu kaabona.
CISSY NAMUJJU
Ono agamba nti maama wa Lwengo era alina okulera abaana n'abazzukulu ng'abakolera bwatyo neyebaza abalonzi okumwagala n'okusiima byabakoledde mu myaka esatu kuba emyaka ebiri yagimala nga yezooba mu kkoti
MUYANJA SSENTAAYI
Ono essanyu lyalina likirako lyamwoki wagonja wabula ye yeyamye okugatta abantu ssekinomu nga talina gwasosola yadde wa Nrm oba wakibiina ekirala kuba bonna ab'etaaga era nasaba okumuyiira obululu mu kalulu akaabona.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts