Thursday, September 17, 2020

Akulira ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus awadde bannaddiini amagezi

Akulira ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus awadde bannaddiini amagezi

AKULIRA ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus Lee man -her akubirizza enzikiriza ez'enjawulo mu Uganda n'okwetoloola ensi yonna okuva mu kwekubagiza olw'okuggala amasinzizo bakozese enkola eziriwo okusaba Katonada aggyewo Corona.
Abyogeredde mu kusaba kwe baategese mu ndi yonna okuyita ku mikutu gya yintanenti nga basabira ensi ewone Corona.
Okusaba kwabaddewo Ku ssaawa 6:00 mu ttuntu ku Lwokusatu ng'amakanisa Shincheonji okwetoloola ensi baaagayunze ku mukutu gumu ne basaba Katonda akomye ekirwadde kya Corona ekigoyezza ensi.
Bakubirizza abantu okwenenya ebibi n'okusonyiwa ababasobezza naddala mu kiseera kino ng'esi esattira olw'ekirwadde basabire wamu mu lutalo lw'okulwanyisa ekirwadde.
"Olwaleero tusazeewo okubeera n'essaaala eno nga tewali atunula munne mu mmunye wadde okumuliraaana wabula nga tukkiriza nti essaala yaffe etuuka butereeve ewa Katonda era ajja kutuwonya kubanga tusabye n'omutima gumu" Lee bwe yasabye.
Yagambye nti ekigendererwa ekikulu kwekulaba nga buli nzikiriza ebeerako ne kyeekola mu kaweefube ow'okulwanyisa Corona kubanga bakkiriza nti Katonda gwe basinza mulamu era asobola okukyusa embeera.
Nga Shincheonji Church of Jesus bagamba nti bagezaaako okuziba oluwonko n'okuggyawo emiziziko wakati w'enzikiriza ez'enjawulo eziteekawo embeera nti abantu ba njawulo so nga bakimanyi bulungi nti basinza Katonda omu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts