Abawagizi b'abeesimbyewo mu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe kabuze katono ebifuba bibabugume nga bawakanya Ashiraf Kakayire okugulirira abalonzi ng'abamu baavudde mu bitundu nga Bwaise , Kyebando , Mulago .
Abesimbyewo kuliko; Moses Katende , Ssande Mubiru Bulevu , Bakitte Sserumaga , Ashiraf Kakayire ne Ashiraf Kagingo Bakitte Sserumaga agambye nti tagenda kukkirizza bivudde mu kulonda kuba munnaabwe Kakayire yaguliridde abalonzi , n'agamba nti agenda kwesimbawo ku bwannamunigina ate Kakayire n'agamba nti abakulembeze ba LC baabaddewo tewali muntu gwe yaguliridde n'omu.
Oluvannyuma aba LDU ne poliisi bakkakkanyizza abalonzi okulonda ne kugenda mu maaso.
BYA MOSES LEMISA