ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe ng'attiddwa mu bukambwe bw'abadde agenze okulima mu ttaka erikaayanirwa bakitaabe wabula abatuuze obusungu babumalira ku nnyumba ya mutuuze munnaabwe gwe bateeberezza okuba mu kkobaane ery'okutta munnaabwe.
Attiddwa ye Henry Sekyewa 25 ng'abadde agenze okulima eno gye yasanze omusajja ayitibwa Livingstone Zziwa nga yamwetegedde dda era olubadde okumulabako kwekutandika okumutematema ebiso ebyamuttiddewo.
Sekyewa azaalibwa Ernest Musoke 70 ne Teddy Nalukwago nga bano bonna batuuze b'e Nakikonge e Makulubita nga poliisi ekutte abooluganda bana okuli; Slyvesita Sekutu n'abaana be babiri okuli; Kizito Bernald 31 ne Steven Makumbi 30 ne taata w'omugenzi Ernest Musoke bayambeko poliisi okunoonyerezza ku nsonga z'ettemu lino.
Omuduumizi wa poliisi y'e Luweero Abraham Tukundane ategeezezza nga abaakwatiddwa bwe bagenda okuyambako poliisi okunoonyereza ng'omuyiggo gwa Zziwa gwe balumirizza bwe gugenda mu maaso.
Tukundane asabye abatuuze okubeera abakkakkamu singa abakwate bazuulibwa nti tebalina musango baakuyimbulwa ku kakalu ka poliisi.
Source