Thursday, September 10, 2020

Bannarotary bakubirizza abantu okujjumbira okugaba omusaayi

Bannarotary bakubirizza abantu okujjumbira okugaba omusaayi

Mu kaweefube w'okulwanyisa ebbula ly'omusaayi mu ggwanga, Bannalotale okuva mu munisipaali ye Kira beekozeemu omulimu ne bakunga abatuuze b'ekitundu okugaba omusaayi basobole okutaasa obulamu bw'abantu.

Aba Rotary beegatiddwaako abasawo okuva mu Mengo Hospital  Rotary Blood Bank ne bakung'aanya omusaanyi n'ekigendererwa eky'okuduukirira abali mu bwetaavu.

Alex Mukuluma akulira aba Rotary Club ye Bulindo mu munisipaali ye Kira eyakuliddemu kaweefube ono yagambye nti mu malwaliro abeetaaga omusaayi bangi wabula ng'abagugaba batono ekivaako ebbulwa lyagwo abamu ne batuuka n'okufa.

Ono yagambye nti abaana b'amasomero bebaali basinga okugaba omusaayi naye okuva ekirwadde kya corona lwekyajja abaana tebakyasoma ekiretedde eggwanga okubeera mu bbula ly'omusaayi.

Franco Aliho eyakuliddemu abasawo okuva e Mengo yakubiriza bannayuganda okwettanira ennyo enkola ey'okugaba omusaanyi kubanga abantu bangi abagwetaaga omuli abakyaala abazaala,  abantu abagwa ku bubenje n'abalala nga bannayuganda balina kusitukiramu bagabe omusaayi bataase obulamu.

Ono yagambye nti oluusi n'omusaayi bweguyitirira mu mubiri guba gwa bulabe nga okukugaba kikulu bwekityo gusobole okuyamba obulamu bw'abalala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts