Monday, September 21, 2020

Basindikiddwa mu kkomera lwa kusangibwa na byambalo bya magye

Basindikiddwa mu kkomera lwa kusangibwa na byambalo bya magye





Hassan Wandera Mukwana 53, omutuuze w'e Bwerenga mu tawuni kanso y'e Katabi mu Wakiso avunaaniddwa kusangibwa n'ebyambalo bya UPDF nga talina kubeera nabyo kubanga ye muntu  waabulijjo.

Wandera kigambibwa nti nga July 22, 2020 e Bwerenga yasangibwa ne yunifoomu ekika kya madowadowa , omugogo gw'engatto ssaako amayinja g'eddaala ly'obwa kapiteeni ebya UPDF.

Ate ye Muhoozi Kyaligonza ng'oluusi yeeyita Mugabi 41, omutuuze mu Kireku zzoni e Bweyogerere e Kira mu Wakiso naye avunaaniddwa kusangibwa ne yunifoomu ssaako omugogo gw'engatto.

Kyaligonza kigambibwa nti omusango yaguzza nga August 5, 2020 bweyasangibwa n'ebintu bino nga talina lukusa ate nga si mujaasi.

Akulemebedde oludda oluwaabi Maj Samuel Masereje yagambye nti okunoonyereza mu misango gya bano ku kyagenda mu maaso n'asaba abawawaabirwa batwalibwe mu kkomera e Kitalya kutuusa nga October 12 lwe bakomawo mu kkooti.

Babadde mu kkooti y'amagye e Makindye ekulemberwa Lt. Gen. Andrew Gutti eyabasomedde emisango era bonna ne bagyegaana.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts