Wednesday, September 23, 2020

Bba wa minisita Rosemary Senninde agenze ku bwakansala

Bba wa minisita Rosemary Senninde agenze ku bwakansala





Senninde nga ye ssentebe w'ekyalo Sennyomo mu ggombolola y'e Kikyusa yayitamu nga tavuganyiziddwa mu kusunsulamu kkansala anaakwatira NRM bendera ku bwakkansala akiika ku disitulikiti. Yakakasizza nti mwetegefu okumegga yenna anaamwesimbako.

Abalala abeewandiisizza mulimu mmeeya wa Luweero, Paul Mukungu Sennyonga (NRM), Dan Ssemuyaba ayagala bwakkansala bwa Kasana-Kavule ku Luweero Town Council.

WAKISO

Waabaddewo okuwaanyisiganya ebisongovu wakati w'abaserikale n'abantu abaakedde e Wakiso okusunsulwa ku bifo eby'enjawulo mu gavumenti ez'ebitundu. Abeesimbyewo baalangidde abakola kukusunsula olw'okubalwisawo okubakolako ng'ate baabadde bakedde nebagezaako okuwaganya okuyingira mukisenge ewasunsulibwa wabula poliisi nebakugira.

Moses Mayanja eyawangula Eng. Ian Kyeyune mu kamyufu ka NRM y'omu ku baasunsuddwa eggulo n'awera okukomyawo disitulikiti mu mikono gya NRM. Yasuubizza okukola enguudo n'okutumbula ebyenjigiriza.

Abalala abaasunsuddwa kuliko; Fabrice Rulinda ayagala obwammeeya wa munisipaali y'e Ntebe, Miriam Kakande ayagala obwakkansala omukazi owa Kasangati 1, Justine Kanyike ayagala obwakkansala omukazi ow'eggombolola y'e Kakiri, Hamidu Kizito Nsubuga ayagala obwammeeya bwa munisipaali y'e Nansana, Allen Nakabugo ayagala obwakkansala omukazi owa Nabweru South, James Karisema ayagala obwakkansala bwa Kimwanyi waadi mu munisipaali y'e Kira n'abalala.

E Kasangati ku mbuga y'essaza, munnamawulire wa Bukedde, Samuel Tebuseeke (DP) gye yeewandiisirizza ng'ayagala bwakkansala bwa Kabubbu waadi ku Kasangati Town Council.

ABAAWANGULWA MU KAMYUFU E MUKONO BAKOMYEWO

Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM beewandiisizza ne beekokkola emivuyo egyali mu kamyufu k'ekibiina. Stephen Mufuuwa, amyuka ssentebe wa disitulikiti yeewandiisizza ku bwakkansala

bw'eggombololola y'e Nakisunga nga talina kibiina.

Sylvia Kyowa Kyobe, kkansala omukyala ow'eggombolola y'e Kyampisi ne Nama baanenyezza abantu abeefuula bakamalabyonna. Caroline Nannyonjo ow'e Namubiru mu Nama yagambye nti oluvannyuma lw'okuwangula akamyufu n'amala ne kkaadi wiiki ssatu baagimuggyeeko ng'era ye ku mulundi guno yeesimbiddewo mu National Unity Platform (NUP).

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts