Saturday, September 19, 2020

Corona anyize ab'ebbaala ne bazifuula amaduuka

ENSWA bw'ekyusa amaaso, nga naawe okyusa envubo. Olugero luno lutuukira ku mbeera y'ebbaala ezimu naddala mu Kampala n'emiriraano. Bw'oyitako mu bitundu gye wacakaliranga n'osanga ng'ekifo kimenyeddwa oba nga gaafuuka maduuka oba bizinensi endala teweewuunya nnyo.

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma lw'okugumiikiriza kati emyezi mukaaga nga Gavumenti tebaggula, nga ne corona ayongera kweriisa nkuuli omuli n'okutta Bannayuganda, bannannyini bbaala omuli n'ez'amannya bangi basazeewo bizinensi okugivaamu ssente ne bazissa mu bizinensi endala.

Ate abalala bakaaba lwa butitimbe bwa ssente ze bafiiriddwa era wano we basinzidde okulaajaana nga bagamba nti singa embeera tekyukako, boolekedde okudda mu kyalo.

Kyokka abalala basabye Gavumenti ebakkirize bakole nga bagoberera ebiragiro n'okuluhhamizibwa okuva mu minisitule y'ebyobulamu.

Wadde nga waliwo essuubi nti mu nteekateeka Gavumenti z'eriko okuggula amasomero n'amasinzizo, ebbaala n'ebifo ebisanyukirwamu nabyo byanditunulwamu kubanga bonna bakuhhaanya abantu, bannannyini bifo bino abasinga bagamba nti, embeera ebayinze ne bwe kuba kubaggula tebakyasobola kutambuza bizinensi eno.

Lenti ali waggulu nnyo, omwenge n'ebyamaguzi ebirala bye babadde batunda byayitako era kati bali mu loosi etegambika.

Patrick Musinguzi omwogezi w'ekibiina ekigatta bannannyini bbaala n'ebifo ebisanyukirwamu ekya ‘Legit Entertainment Bars association of Uganda' agamba nti, bakoze kyonna ekisoboka okulaba nga babakkiriza okuddamu okukola era balindiridde Pulezidenti kubabuulira lunaku lwe baddamu okukola.

Ebbaala ya Texas nga bw'efaanana.

"Twasookera wa Sipiika Rebecca Kadaga ne tugenda mu ofiisi ya katikkiro wa Gavumenti ne mu kakiiko akaateekebwawo okukola ku nsonga za corona (Task force). Tubalaze buli kimu omuli n'engeri gye tuyinza okukolamu nga tugoberera ebiragiro ebyassibwawo. Baatusuubiza okwongerayo ensonga zaffe mu bakugu ne tusuubira nti ensonga zaffe zigenda kukolwako bunnambiro wabula gye bigenda tweyongera kweraliikirira."

Ono agamba nti ensonga ereese abantu okuggyawo ebbaala be balandiroodi nabo abanoonya ssente. Kati bangi baasazeewo waakiri okutema mu bifo bino ne babifuula amaduuka ate nga n'abebbaala ababaddemu tebakyakola era abamu balandiroodi baawamba ebintu byabwe.

EZIMU ZIFUUSE WOOTEERI

Musinguzi agamba nti abamu ku bannannyini bbaala baamutegeezezza nti basazeewo okukola wooteeri mu bifo mwe babadde bakolera bagire nga bafuna ku kasente k'okweyimirizaawo.

George Waiswa nnannyini bbaala za Happy Boys e Namasuba ne Busega agamba nti yasalawo okufuula ebbaala ye ey'e Busega wooteeri kubanga tagenda kufiira mu nnyumba njala olwa corona, ng'ate alina ekifo n'amagezi okutetenkanya ekifo kye okuvaamu ssente.

Ono agamba nti e Busega abadde n'abakozi 45 ate e Namasuba 65 nga bano baatuuka ekiseera nga bamugamba nti tebatakyalina kyakulya naye kwe kusalawo okusooka okukolayo ekintu ekirala mwe bayinza okuggya ku ssente.

Agamba nti olw'okuba bannannyini bifo baasigala babasaba lenti eky'okuteeka wooteeri e Busega yakikola kukendeeza ku ssente z'asasula balandiroodi nga ziva mu nsawo ye butereevu so nga talina ky'akoleramu.

Yagambye nti, wadde e Busega yataddewo wooteeri, naye ssinga Pulezidenti Museveni aggulawo ebbaala, tajja kuggyawo wooteeri ate n'ebbaala ajja kugikomyawo kubanga abantu bagimanyidde ate nga bakasitoma baabwe baamutegeezezza nti abawonyezza okwewuubanga nga banoonya emmere mu bifo ebirala.

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Mu kifo kye kimu waliwo ekizimbe kya 4 Ways ekibaddeko ebbaala eziwerako era nga zonna zikeesa, nnannyinikyo yakitemye n'assaamu amaduuka ne saluuni.

Ku luguudo lw'e Salaama awaakazibwako mu ‘Kiwafu' wabaddewo ebbaala eyitibwa Razar nga nayo abanywi babadde bagyettanira,wabula mu kiseera kino yakyusiddwa era kati bafumbirawo mmere.

Ebbaala ya "De spoon" e Makindye okumpi ne Calender, emu kw'ezo ezibadde ez'amaanyi yatemeddwaamu amaduuka agatunda engoye z'abakyala. Ku luguudo lwe lumu okumpi n'ewa Kuleekaana nawo wabaddewo ebbaala ya "De New Island Bar" ng'ejjumbirwa nnyo abadigize. Eno yamenyeddwa n'efuulibwa ekifo we booleza emmotoka ne ppikipiki.

Ebbaala ya Blue Pub ne Latus Pub e Kabalagala nazo mu kiseera kino zikyusiddwa nga kati birabo bya mmere. Abakozi mu bifo bino baategeezezza nti bakama baabwe baabagambye nti embeera bw'eriba eteredde ng'ebbaala zigguddwa, bajja kuddamu okutunda omwenge.

Ivan Kimbugwe alina ebbaala e Salaama yagambye nti ebintu bye byonna bye yali akozesa nnannyini kizimbe yabiwamba olw'ebbanja ly'obupangisa kati ali mu kattu talina w'atandikira.

Ye Benard Ssentumbwe nga naye abadde alina ebbaala e Makindye yagambye nti mu kiseera kino embeera nzibu nnyo gy'ayitamu kubanga nnannyini kizimbe w'abadde apangisa yamugobezzaamu ebintu n'amutegeeza ng'ekizimbe kye bw'agenda okukitema akolerewo ebintu ebirala.

Tonny Ssempijja omu ku bakulira ekibiina ekigatta ab'ebbaala n'abategesi b'ebivvulu yagambye nti akaseera kano kazibu nnyo gye bali kubanga emirimu gyabwe gyonna gyesiba.

Ssempijja yagambye nti ebbaala okusigala nga nsibe, kitadde abaziddukanya n'abazikoleramu mu kaseera akazibu kubanga tebannamanya ddi Pulezidenti lw'agenda kuziggulawo kye yagambye nti bannannyini bizimbe kye bavudde bakyusa ebifo byabwe.

Ebbaala ya Comrades e Makindye nga bw'efaanana.

Ssempijja yagambye nti ebbaala obutaggulwawo tekikosa bannannyinizo bokka wabula n'abawala n'abalenzi ssaako bakanyama ababadde bakolerayo bonna kyabakosa era ku ssaawa eno tebakyalina kyakulya.

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

JANE Nannyonga (Senga) maneja wa Spoon X esangibwa e Makindye agamba nti bayise mu mbeera y'okunyigirizibwa okuva obulwadde bwa corona bwe bwajja era nga kino kyabawaliriza n'okufunza ekifo ky'ebbala.

Ono agamba nti ekizimbe kyonna kyaliko bbaala wabula oluvannyuma lw'ebbaala okumala ebbanga eddene ku muggalo baasalawo mu maaso batemetememu basseewo amaduuka eby'ebbaala bisigale emabega.

Nanyonga agamba nti newankubadde nga baakola kino naye ssente bafuna ntono ddala bw'ogeraageranya kwezo ze baafunanga mu bbaala nga kyenkana kati bakola mmere ya leero.

omwenge.
Ivan Kimbugwe
alina ebbaala e Salaama
yagambye nti ebintu bye
byonna bye yali akozesa
nnannyini kizimbe
yabiwamba olw'ebbanja
ly'obupangisa kati ali mu
kattu talina w'atandikira.
Ye Benard Ssentumbwe
nga naye abadde
alina ebbaala e Makindye
yagambye nti mu
kiseera kino embeera
nzibu nnyo gy'ayitamu
kubanga nnannyini kizimbe
w'abadde apangisa
yamugobezzaamu ebintu
n'amutegeeza ng'ekizimbe
kye bw'agenda okukitema
akolerewo ebintu ebirala.
Tonny Ssempijja omu
ku bakulira ekibiina
ekigatta ab'ebbaala
n'abategesi b'ebivvulu
yagambye nti akaseera
kano kazibu nnyo gye bali
kubanga emirimu gyabwe
gyonna gyesiba.
Ssempijja yagambye nti
ebbaala okusigala nga
nsibe, kitadde abaziddukanya
n'abazikoleramu
mu kaseera akazibu
kubanga tebannamanya
ddi Pulezidenti lw'agenda
kuziggulawo kye
yagambye nti bannannyini
bizimbe kye bavudde
bakyusa ebifo byabwe.
Ssempijja yagambye nti
ebbaala obutaggulwawo
tekikosa bannannyinizo
bokka wabula n'abawala
n'abalenzi ssaako bakanyama
ababadde bakolerayo
bonna kyabakosa era ku
ssaawa eno tebakyalina
kyakulya.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts