Nnamwandu Constance Bangirana bwe yabadde amwogerako mu kusaba okwabadde mu kkanisa ya Yunivasite ya Bishop Stuart yategeezezza nti okuva lwe baakomawo ng'okulonda kuwedde, omugenzi teyaddamu kubera bulungi wadde ng'abadde atawaanyizibwa ebirwadde okuli Sukaali ne Puleesa.
Yayongeddeko nti yagwa mu kinaabiro n'akosebwa kyokka omusawo we, Dr. Agaba n'amukolako era n'alabika nga ateredde kwe kumuzza ewuwe e Rwetondo.
Yagasseeko nti ku Ssande yatumya bannaddiini n'emikwano ne bamusabira kyokka n'afa enkeera ku Mmande.