Tuesday, September 15, 2020

Gav't ennyonnyodde ku by'okusibira Minisita Rukutana mu kkomera e Kitalya

Gav't ennyonnyodde ku by'okusibira Minisita Rukutana mu kkomera e Kitalya




Mu ngeri y'emu ekitongole ky'amakkomera kinnyonnyodde ku nsonga z'okukyusa minister Mwesigwa Rukutana okumuggya e Ntung'amo okumuleeta e Kitalya ne kitegeeza nti kyakoleddwa mu mateeka agafuga ekitongole kino era tekiria mutawana.

Omwogezi w'ekitongole kino Frank Baine yagambye nti abasibe abapya tebakyatwalibwa Luzira olw'ensonga z'obulwadde bwa ssenyiga.

N'agamba nti ekkomera ly'e Kitalya mu Wakiso lyazimbibwa bulungi nga liriko ebyokwerinda ebimattiza ng'ery'e LUZIRA era kati mwe musibirwa abasibe ab'ekikungu n'abo abazza emisango gya naggommola n'olwekyo okuletebwayo kwa Rukutana eyaliko Ssabawabuzi wa gavumenti ku by'amateeka tekirina we kikontanira na mateeka g'amakkomera.Yagambye nti okukyusa omusibe okumuggya mu kkomera erimu okumuzza mu ddala buvunaanyizibwa bwa Ssabaduumizi w'ekitongole ky'amakkomera.

Rukutana yakwatibwa n'aggalirwa nga kigambibwa nti yasika ku bakuumi be emmundu n'alumya abawagizi ba munne gwe yali avuganya naye mu kamyufu ka NRM Naome Kabasharira.

Ku nsonga z'obulwadde bwa ssenyig , Baine yagambye nti amakkomera ga Uganda galimu abasibe abasoba mu 61,000 kyokka nga ku bo 400 be bakakwatibwa obulwadde bwa ssenyiga era bajjanjabirwa mu bifo ebitali bimu. E Gulu wajanjabirwayo 300  n'e Jinja 97 kyokka nga tebali mu mbeera mbi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts