Wednesday, September 16, 2020

Gav't ereese ttulakita ezinaapangisibwa abalimi

Gav't ereese ttulakita ezinaapangisibwa abalimi

Bya Tom Gwebayanga

Ekinywa ekimu kibeeramu weetiiye majegere (bulldozer), gguleeda erima enguudo, Kayiikuuzi (eno esindika emiti, ebikonge n'ebiswa), ttulakita etikka (wheel loader) ttipa (dump truck) ttulakita ekkatira oba enyiga ettaka (vibrating roller), efukirira, ttulakita  eriko enkumbi ez'ebika eby'enjawulo, etambuza ebikozesebwa (mobile workshop truck)  n'ebirala.

Ttulakita zino, abalimi  bagenda kuzipangisanga ku miwendo emisaamusaamu okusaggula amasamba amapya, okulima, n'emirimu emirala, mu kaweefube w'okufuula obulimi bizinensi.

Ttulakita zino zajjidde mu nkola yay'okukozesa tekinologiya mu byobulimi nga zaagabiddwa mu bitundu  bitaano (5), okuyamba abalimi okutegeka amasamba n'okusiga ensigo mu budde. Ebinywa bino byagabiddwa e Mbale, Kasese, Dokolo,Bushenyi  ne Mpigi.

Zijja kwerulanga emiti mu masamba, okusindika ebiswa, agayinja aganene, okusima ebidiba ente mwe zinywa, ebidiba eby'ebyennyanja, okugogola emyala, okulima enguudo , okuggula emikutu egitwala agafukirira ne kalonda omulala.

 Minisita  omubeezi ow'ebyobulimi, Aggrey Bagiire,  ebyuma yabikwasizza abakungu b'ebyobulimi n'abakuutira babikozese n'obuvunaanyizibwa, obulimi babufuule bizinensi abantu beggye mu bwavu.

Yasabye abalimi balondoole enkozesa yaabyo  era baloope ababikozesa obubi.

BYAGUZE OBUKADDE BWA DDOOLA 40

Ebyuma bino, okusinziira ku Minisita Bagiire, bbyamazeewo obukadde bwa ddoola 40, mu za Uganda ze bbiriyooni 120.

Gavumenti yatuukirizza ebyakkaanyizibwako mu ttabamiruka w'omukago gwa Afirika ku ntegeka ennambulukufu ey'okukulaakulanya Afirika ( African Union's Comprehensive Africa Development Programme- CAADP) eyatuula mu kibuga  Maputo  ekya Mozambique mu 2003.

Mu ttabamirukaono kyakkaanyizibwako nti Afirika erina okwerwanako okukendeeza ku bwavu ng'ewagira abalimi bave mu kukozesa emikono  n'enkumbi mukono mukono, badde  ku byuma eby'omulembe.

"Ekigendererwa kya kuzza muzinzi mu bulimi, bikule ku sipiidi ya bitundu 6 ku buli 100 omwaka," Bagiire , era nga ye Mubaka wa Bunyha West e Mayuge, bwe yagambye.

EBISALE

Majegere ejja kupangisibwanga 60,000/-  buli ssaawa, gguleeda 50,000/-, kayiikuuzi 60, 000/-, etikka 50,000/-.

Ttipa asomba ettaka ya 100, 000/-  olunaku ate ekkatira 250, 000/- olunaku n'ebiralala.

Ying Boniface Okanya, yagambye nti entegeka eziriwo kwe kufuna  ebinywa 18 mu ggwanga mu myaka 5 egijja, nga buli kinywa kyakuweerezanga emyaka 20.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts