OMUTINDO Dean Henderson gwe yayolesezza mu mupiira gwe ogwasoose mu mujoozi gwa ManU gwongedde okuteeka David De Gea ku puleesa.
Henderson, ye yabadde mu ggoolo nga ManU ekuba Luton Town ggoolo 3-0 mu Carabao Cup ku Lwokubiri. Mu mupiira guno, ManU ng'ekyakulembedde ne ggoolo 1-0, Henderson yaggyeemu omupiira gw'omutwe, abantu abasinga gwe baabadde bamaze okubala nti gunywedde! Tom Lockyer (Luton), yatomedde omupiira n'amaanyi kyokka Henderson n'agitaasa n'omukono gumu!
Kino kyalese bangi beebuuza lwaki Ole Gunnar Solskjaer akyagaanyi okumufuula nnamba emu we. De Gea, ye nnamba emu wabula wiikendi ewedde bwe yabadde mu ggoolo nga baggulawo Premier, Crystal Palace yamuteebye ssatu. Okuva sizoni ewedde, nga Henderson akola bulungi ekyawalirizza ManU obutamuzzaayo ku looni mu Sheffield United.
"Ndi musanyufu okuyamba ManU okuwangula era ng'enda kusigala nnwaana okutuusa nga nfuuse nnamba emu,"Henderson bwe yagambye. Solskjaer yagambye nti ajja kwongera okubeetegereza alyoke asalewo atandika.
SOSLKJAER BATAWA MUPIIRA BAMULAZEEKO
Solskjaer, yakyusizza abazannyi 10 okuva mu ttiimu eyakubwa Crystal Palace. Eric Bailly, Juan Mata, Jesse Lingard, Brandon Williams, Fred ne Ighalo baalaze nti bagwanidde okubeera mu ttiimu esooka.