Siteegi 10 zikwatiddwa ku mpaka mu ppaaka ya ttakisi mu Kisenyi n'endala ne ziragibwa ziyingire mu ya Namayiba ssaako ne Namirembe ttakisi ppaaka.
Mu Kisenyi batutteko siteegi okuli eya Ntebe , Zzana, Namasuba, Kajjansi ssaako ezikwaata ku luguudo lw'eJinja okuli Jinja , Iganda ,Mbale n'okugendera ddala e Busia.
Kyokka ba Ddereeva abamu abaabadde batamanyidde ppaaka ya Kisenyi era nga bamaze ebbanga nga tebakiriza kutwalayo motoka zaabwe basoose kuguguba okutuusa poliisi siteegi yaabwe bwegigobyeewo.
Ebifo byonna ebibadde bisimbamu mmotoka ezigenda ku luguudo lw'eNtebe nga ziri mu ppaaka mpya kati ebifo byatwaliddwa mmotoka ezikola ku siteegi y'eNateete ne Busega.
Ssentebe wa ppaaka ya Kisenyi Julius Ddamulira yagambye nti ba ddereeva babadde bagaanira bwerere okuyingira mu ppaaka ya Kisenyi ate nga yaggwa buli kimu ekirina.
"ppaaka ya Kisenyi ttakisi ppaaka yonna yakubwa kolansi, ngazi, erimu ebifo ebikalu bingi ate mmotoka ezigikozesa tezikwatibwa bulippagano. Zonna ezigenda entebe zikozesa luguudo lwa ku Lubiri ne zigwa mu Ndeeba olwo ne zigenda e Zana oba e Najjanankumbi nga zifulumye e Kajjansi" Ddamulira bweyagambye.
Kyokka abamu ku ba ddereeva bakyayomba nti baagala ppaaka eyongere ku byokwerinda, etteekewo emizindaalo egiranga abasaabaze gyebagenda ssaako okwongera okusomesa ba ddereeva enkozresa y'obubikka ku mimwa n'okunaaba mu ngalo.
Wabula ssentebe wa ppaaka Julius Ddamulira yagambye nti amazzi , obuguwa, obupima ebbugumu n'abasomesa abalinya mu ttakisi baabateekawo nti tewali musaabaze kyasobola kwekwaasa kiraga nti ppaaka teri ku kumutindi.
Ate mu ppaaka ya Namirembe ttakisi ppaaka nayo baagala siteegi egenda ku mpigi, Masaka , Butambala , Mityana ne Mubende ,Kiboga kubanga bakyalina ebifo bingi wezisobola okusimba. Mu ntegeka yeemu, ttakisi endala ezibadde zikyagaanye okuyingira mu USAFI nazo zaayingidde ssaako eza Namayiba ezigenda ku ludda lw'eBombo .
Omwogezi wa KCCA Daniel Niwe Abine yakakasa nti KCCA ekyayongera okutegekera Kampala era baagala buli mmotoka egende mu ppaaka gyebaagiragira okwewala obuvuyo. Ate mu ppaaka empya , ebifo omubadde ezigenda ku luguudo lw'eNtebe byatwaliddwa dda kyokka era ekyajjudde.