Ekiro ky' Olwokubiri September 8, 2020, Kiplimo 19, yavudde mabega okuwanulayo omuthiopia Selemon Barega eyabadde aleebya banne okuva ku ntandikwa.
Ng'ebula emyetooloolo ebiri, Kiplimo yamuyisizaako emisinde era n'akuuma ekifo ekisooka ng'addukidde eddakiika 12:48:63 ate munne n'amalira mu kyokubiri (12:49.08).
Baabadde mu mpaka za IAAF Golden Spike 2020 Athletics Meeting mu kibuga Ostrava ekya Czech Republic.
Kiplimo y'alina omuddaali gw'ensi yonna ogwa ffeeza mu mbiro ez'okwetooloola ebyalo (World Cross Country silver medalist) gwe yawangula omwaka oguwedde. Guno omwaka agutandise na kumenya likodi ya munnakenya Steven Cherono (12:48.81) ebaddewo mu misinde gya mitta 5000.
"Natandise nga njagala kifo kisooka, era obwedda nziruka bwe nnyongeza nga bwe mbala abankulembedde era Mukama yabadde mwesigwa n'ampanguza," Kiplimo bwe yategeezezza.
Mu ngeri y'emu munnayuganda Winnie Nanyondo yamalidde mu kifo kya 9 mu misinde gya mitta 1500 gye yavuganyirizaamu e Czech Republic.