MBARARA City FC mu liigi ya babinywera enaazizaako abadde omuzannyi wa SC Villa amaziga bw'emuwadde endagaano ya myaka ebiri n'akawaayiro k'okufuuka omuzannyi asinga okusasulwa mu ttiimu.
Ku Lwokusatu Mutanda 22, yayanjuddwa mu butongole abakungu ba Mbarara City ku wooteeri ya Kati Kati gye baalagidde n'omuvuggirizi waabwe omuggya owa premium distillers ltd.
Gye buvuddeko Mutanda yeekyangira ku SC Villa n'agaana okuteeka omukono ku ndagaano empya ng'agamba nti bamala kumusasula emyezi mwenda gye yali ababanja.
Kigambibwa nti Mutanda yali yateeka omukono ku ndagaano ne SC Villa ng'alina kusasulwa emitwalo 90 buli mwezi, wabula emyezi omwenda egisembyeyo tasasuddwa era wano Mbarara City we yasinziiridde okufuula omuzannyi asinga okusasulwa.
Omuzannyi asinga okusasulwa mu Mbarara City, afuna emitwalo 70 buli mwezi, kino kitegeeza nti Mutanda abadde asasulwa emitwalo 90 mu SC Villa kati ateeberezebwa okuwunzikira mu kakadde.
Mwine Mpaka omugagga wa ttiimu agamba nti sizoni eno baagala kubbulula Mbarara City mu buli nsonga okuli okukola ekisaawe, okulwanirira ly'abasambi nga basasulwa bulungi.
"Bukya tujja mu ‘Super' tubadde tukola bulungi naye sizoni eno twagala kulwanira kikopo era y'ensonga lwaki tuleese Mutanda omu ku bateebi abasing mu ggwanga," Mpaka bwe yategeezezza.
Mutanda agamba nti abadde anoonya ttiimu esobola okusiima by'akola ng'etuukiriza ebyo ebyasuubizibwa.
"Maze emyaka esatu nga Mbarara City emperereza naye nga saagala kusazaamu ndagaano yange, wabula oluvannyuma nejjusa, naye kati ng'enda kulwanirira okusitula omutindo gwange okuvuganya ku ky'omuteebi asinga n'okudda ku ttiimu y'eggwanga," Mutanda bwe yategeezezza.
Ono yeegasse ku Ronald Edwoko, Godfrey Kalungi, Ivan Ahimbisibwe, Frank Yiga ne Julius Ssekyewa abaakegatta ku ttiimu eno.
Ate Solomon Mbamba, Swaliq Bebe, Steven Othieno ne Muhammed Ssekkeba be bazizza obuggya endagaano ku Mbarara City.
Mbarara City sizoni ewedde yamalira mu kifo kya 7 n'obubonero 36, oluvannyuma lwa sizoni okusazibwamu olwa Corona Virus.
Source