Bya JALIAT NAMUWAYA
ABATUNZI BEESUNGA KUKOLA MASIKI EZA YUNIFOOMU
Ronald Mulima mutuuze w'e Kibuli mu ggombolola y'e Makindye ng'eno gy'akakkalabiza emirimu egy'okutunga ekyalaani ng'atunga
yunifoomu z'abayizi n'engoye eza bulijjo.
Amasomero bwe gaggalwa, Mulima amaanyi yaggaza ku kutunga bukookolo (masiki) era nga wano w'akyasibidde olukoba.
MASIKI EZA YUNIFOOMU
Mulima yatandise dda okutuukirira abakulu b'amasomero obutamuyisaako katale ka kutungira bayizi masiki eza yunifoomu ate nga ziri ku mutindo ogwalagirwa ekitongole ky'omutindo mu ggwanga ekya UNBS era agamba nti asobola n'okuzikubako akabonero k'essomero oba okugiwandiikako erinnya ly'essomero nga nnyini ssomero bw'aba yeetaaze .
Buli kimu agamba yamaze okukiteekateeka era amassomero we gaddiramu naye w'atandikira .
ABAKOLA EBITABO BAZZEEMU
Ku Nasser Road mu Kampala awasinga okukolerwa ebitabo by'abaana b'amasomero akeetereekerero kaatandise bwe baawulide oluvuuvumo nti amasomero gandiggulwawo nga 21 omwezi guno.
Ibrahim Kibirige akola ebitabo ebinene abayizi bye bawadiikamu (black books) yagambye nti kyenkana okuva amasomero lwe gaggalwa mu February w'omwaka guno nabo bizinensi zaabwe ne zigootaana.
Kibirige yategeezezza nga bwe beekolamu SACCO ku Nasser bwatyo n'asaba gavumenti okubadduukirirayo ne ssente basobole okwongera mu bizinesi zaabwe kyenkana ezitakyalimu kapito olw'okukosebwa okuggalwa kw'amasomero.
Mu kiseera kino ye ne banne bazzeemu okukola ebitabo okwongereza ku sitoooko enkadde eyasigalawo amasomero lwe gaggalwa yadde ng'essuubi ly'okukola ku ssente eziwera balirina mwaka gujja ebibiina byonna bwe biribeera bigguddwaawo.
ABATUNDA AKAWUNGA
Mu bitundu by'omu Kisenyi mu Kampala abasuubuzi abakuba n'okutunda obuwunga batutegeezezza nti okutuusa ng'omukulembeze w'eggwanga amaze okulangirira tebayinza kwesunga nnyo kuggulawo kw'amasomero .
Wabula kino tekyatangidde omu ku basuubuzi ,Khalim Matovu okubaako sitoowa gy'apangisa nga munno mw'aterese obusawo bw'obuwunga obuwerako era we bagambira nti amassomero gagguddewo ajja kuba asobola bulungi okugaguza mu bungi .
Agamba nti gavumenti esaanidde okubaako engeri gy'ekwatirako amasomero kagabeere ga bwannannyini ku ky'okuliisa abayizi .
ABEEBYENJIGIRIZA
Omwogezi wa ministule y'ebyenjigiriza Patrick Muinda yawabuddemu nti tewannabawo lunaku lutuufu lwalambikiddwa masomero kuggulwawo era n'asaba abayizi ,abazadde n'abasuubuzi okusigala nga bakkakkamu okutuusa bwe banaafuna okulambika okuva mu minisita w'ebyenjigiriza oba omukulu w'eggwanga .