Nze Pamela Bashemera mbeera Katooke mu Jinja - Kalooli mu disitulikiti y'e Wakiso.
Twasisinkana ne baze mu 2017 e Katooke nga ndi musuubuzi wa matooke ate nga ye akola mirimu gya bwannakyewa.
Baze okunkwana yasooka kuba kasitoma wange ng'amanyi okujja ne tunyumya era wano we yatandikira okunsuulayo obugambo okukkakkana nga muvuddemu mukwano.
Mu kunkwana, yantegeeza nga bwe yalina omukyala omukulu gw'alinamu abaana naye nga yanoba era ekyo ne nkigumira.
Twatandika okubeera ffembi naye ebiseera ebyo, yali akyabeera mu nnyumba gye baali bapangisa ne mukyala mukulu. Kino nasooka ne nkigaana wabula n'antegeeza nga bwe wataali buzibu kuba oli baali baawukanye.
Omukwano gwaffe gwatambula bulungi ddala era mu mukwano guno mwe nnazaalira n'abaana babiri. Wabula nga wayise ebbanga, twafunamu obutakkaanya ng'abafumbo ne nsooka nvaako ewuwe nga kalantiini yaakatandika okwewala okuyombagana.
Saamanya nti okugenda kwange, nnali mpa mukyala mukulu luwenda lwa kuddihhana ne baze era n'adda mu ddya n'abaana be.
Musajjawattu yali tamanyi nti yeekomerezaawo olumbe olugenda okumuggya mu bulamu bw'ensi eno.
Kino saakirondoola nnyo kuba munnange ono ye yali yansooka mu maka gano wabula baze yasigala ampeereza obuyambi bw'abaana wadde nga nnali sikyabeera naye.
Lumu nnakubra baze essimu era tuba twogera kwe kuntegeeza nga bw'atalina mirembe mu maka kuba omukyala okuva lwe yadda abeera ayomba buli kiseera ate nga buli lwe bayomba amusuubiza okumutuusaako obulabe.
Namuddamu nti ebyo bye wayagala nga simanyi nti, omukazi bye yali amugamba yali abitegeeza era ekiro ekyo lwe yamutemaatema n'amutta n'adduka.
Nagenda okutuuka ku baze nga mu butuufu omukazi yamuttidde mu bulumi ne mpunga. Eno ye yali ensibuko y'okubonaabona kwange era kati mpita mu mbeera enzibu ddala era nga nsaba ebitongole ebiyambi nga biyita mu Bukedde okunziruukirira kuba sirina mulimu ate abaana bakyali bato.