Wano we mulina okutegeka obwongo bw'abaana okubuggyamu obutalavvu bwe bafunye mu luwummula luno oluwanvu. Kino tekitegeeza nti abazadde temukuumye bulungi baana bammwe, naye waliwo emize abaana gye bayinza okuba nga bafunye nga bwe gitalwanyisibwa gijja kubakosa.
Okugeza, ekiseera abaana kye babadde awaka, tebafunye kulambikibwa mu kusoma kwe babadde nakwo awaka. Kubanga ku mulundi guno, abasomesa tebaabawa byakukola mu luwummula nga bwe kibaddenga bulijjo.
Eby'okusoma byatuuka akaseera nga bya mu bubba. Kino nakyo ne kireetera omwana okumanya nti omuntu akukuta ng'aliko kyakola. Kati olwo bw'anadda ku ssomero onoomuggyamu otya okukukuta?
Kuno kwogatta n'emize emirala abaana gye bayize mu mbeera etali ηηenderere olw'embeera gye babaddemu. Abazadde abamu bakola omulimu gwa kubuulirira bafumbo.
Kati mu kaseera kano babaddenga babuulirira abafumbo ng'abaana bawulira. Oluusi abazadde bano ne beesanga nga bamokkodde ng'abaana weebali. Olulala nga babadde bayitawo ne bawulira.
Kubanga oluusi amayumba mwetusula mafunda; nga kizibu okugobawo abaana n'ogamba nti tebaayiteeyitewo nga balina bye bakima mu nnyumba.
Ate waliwo abamu nga olw'okuba babadde awaka akaseera kanene okusinga ku kaabulijjo, bawulidde ng'abazadde baneneηηana. Ate abazadde abamu tebalina kasiba. Bwe baba baatabuseemu, boogera ne bayitawo ne beerangira!
Ebyo byonna babaddenga basuula mu matu ga baana. Oluusi ennyombo zino zibadde ziyitawo ne zituuka ne mu kufunya eηηuumi, ng'abaana bamoga!
Bino byonna abaana babiyize. Laba naye bw'adda ku ssomero ng'alina omutima ogwo; gwakuyomba n'ayitanawo natandika okulwana!
Ekinaazibula abazadde kwe kubayitanga ku ssomero ng'omwana alina ensobi gyakoze, nakugamba mu maaso g'abasomesa nti yalabira ku ggwe lwe wayomba ne ddadi/ mmami (nti naawe wamuvuma ekigambo ekyo!) Laba omuzadde bw'ofa ekitiibwa.
Abaana abamu emize bagiggye eyo gye babadde banoonyeza ennusu. Ate eyo oluusi mwenyumiza emboozi zammwe awatali kufaayo, kyokka nga girimu emize.
Laba abaana bwe bagiyize gyonna gy'ajja okutwala ku ssomero.
OLUVANNYUMA lwa Gavumenti
okulangirira nti abayizi
abamu baddyo okusoma nga
October 15, 2020, abazadde
baatandise dda okutegeka abaana
baabwe.
Wabula omuzadde olina
okukimanya nti okusoma kugenda
na mpisa. Wano we mulina
okutegeka obwongo bw'abaana
okubuggyamu obutalavvu bwe
bafunye mu luwummula luno
oluwanvu.
Kino tekitegeeza nti abazadde
temukuumye bulungi baana
bammwe, naye waliwo emize
abaana gye bayinza okuba nga
bafunye nga bwe gitalwanyisibwa
gijja kubakosa.
Okugeza, ekiseera abaana
kye babadde awaka, tebafunye
kulambikibwa mu kusoma
kwe babadde nakwo awaka.
Kubanga ku mulundi guno,
abasomesa tebaabawa byakukola
mu luwummula nga bwe
kibaddenga bulijjo. Eby'okusoma
byatuuka akaseera nga bya mu
bubba. Kino nakyo ne kireetera
omwana okumanya nti omuntu
akukuta ng'aliko kyakola. Kati
olwo bw'anadda ku ssomero onoomuggyamu
otya okukukuta?
Kuno kwogatta n'emize emirala
abaana gye bayize mu mbeera
etali ηηenderere olw'embeera
gye babaddemu. Abazadde
abamu bakola omulimu gwa
kubuulirira bafumbo. Kati mu
kaseera kano babaddenga
babuulirira abafumbo ng'abaana
bawulira. Oluusi abazadde bano
ne beesanga nga bamokkodde
ng'abaana weebali. Olulala nga
babadde bayitawo ne bawulira.
Kubanga oluusi amayumba
mwetusula mafunda; nga kizibu
okugobawo abaana n'ogamba nti
tebaayiteeyitewo nga balina bye
bakima mu nnyumba.
Ate waliwo abamu nga
olw'okuba babadde awaka
akaseera kanene okusinga ku
kaabulijjo, bawulidde ng'abazadde
baneneηηana. Ate abazadde
abamu tebalina kasiba. Bwe
baba baatabuseemu, boogera ne
bayitawo ne beerangira! Ebyo
byonna babaddenga basuula mu
matu ga baana.
Oluusi ennyombo zino zibadde
ziyitawo ne zituuka ne mu
kufunya eηηuumi, ng'abaana
bamoga! Bino byonna abaana
babiyize. Laba naye bw'adda
ku ssomero ng'alina omutima
ogwo; gwakuyomba n'ayitanawo
natandika okulwana! Ekinaazibula
abazadde kwe kubayitanga
ku ssomero ng'omwana alina
ensobi gyakoze, nakugamba mu
maaso g'abasomesa nti yalabira
ku ggwe lwe wayomba ne ddadi/
mmami (nti naawe wamuvuma
ekigambo ekyo!) Laba omuzadde
bw'ofa ekitiibwa.
Abaana abamu emize bagiggye
eyo gye babadde banoonyeza
ennusu. Ate eyo oluusi
mwenyumiza emboozi zammwe
awatali kufaayo, kyokka nga
girimu emize. Laba abaana bwe
bagiyize gyonna gy'ajja okutwala
ku ssomero.