Tuesday, September 29, 2020

Omusango gwa Kibalama guleka wa Bobi Wine:

Omusango gwa Kibalama guleka wa Bobi Wine:





Kino kitegeeza ki eri abajjidde ku kaadi ya NUP ku mitendera gyonna egy'obukulembeze, ssinga kkooti esalawo nti NUP yawandiisibwa mu bukyamu?

Kkooti enkulu ey'omulamuzi Musa Ssekaana ku Lwokutaano yategeezezza nti ajja kuwa ensala nga October 16. Mu kirayiro Kibalama ne Kagombe kye baakuba baalaga nti baakolera ku mpapula enjigirire okwali n'emikono gye baayita egya bammemba b'ekibiina ekikadde ekya National Unity Reconciliation and Development Party (NURP) egyali emigingirire nti era gye baaweereza mu kakiiko k'ebyokulonda ne gikozesebwa mu kukyusa ekibiina okufuna NUP n'okukyusa obukulembeze ne bakikwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu ngeri gye boogerako kati nti teyagoberera mateeka.

Balooya ab'enjawulo baategeezezza Bukedde nti ensala eyo eyinza okutegeeza nti abo bonna ababa beewandiisizza okuvuganyiza ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP) baba bayinza okusazibwamu. Ate nga tewakyaliwo mukisa kuddamu kubawandiisa kuvuganyiza mu kibiina ekirala oba okuvuganya nga tebalina kibiina mwe bajjidde.

Mu musango guno, Kibalama eyali Pulezidenti w'ekibiina ekyavaamu NUP agulimu ne Paul Ssimbwa Kagombe (eyali Ssaabawandiisi).

Abantu abasukka mu 200 be baggyayo empapula nga baagala okuvuganyiza ku kkaadi ya NUP ku bifo by'obubaka bwa Palamenti. Abajjidde ku kkaadi ya NUP tebayinza kwekakasa nsala ya kkooti bw'eyinza kufaanana.

Kkooti y'omulamuzi Ssekaana erina okusalawo ku bintu bibiri; Ekisooka NUP eriwo mu mateeka? Ekyokubiri eriwo mu bumenyi bw'amateeka? Bw'eba esazeewo nti yatondebwawo nga tegoberedde mateeka ekiddako ebeera nsasagge mu beewandiisizza okuvuganyiza mu NUP.

Abamu ku batunuuliddwa okuvuganyiza ku kkaadi ya NUP kuliko n'ababaka abaasala eddiiro okuva mu DP ne beegatta ku NUP era abasinga nga batunuuliddwa ng'abalina enkizo okuddamu okuwangula ebifo by'obubaka bwa Palamenti.

Abamu ku babaka abaateekayo okusaba okuvuganyiza ku kkaadi ya NUP kuliko Matthias Mpuuga (Nyendo - Mukungwe) mu Masaka City, Betty Nambooze (Mukono Municipality), Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Allan Ssewannyana (Makindye West), Gonzaga Ssewungu (Kalungu West), Muwanga Kivumbi (Butambala), Patrick Nsamba Oshabe (Kassanda North), Francis Zaake (Mityana Municipality), David Kalwanga Lukyamuzi (Busujju), Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene owa Makindye - Ssaabagabo, Moses Kasibante (Lubaga North), John Baptist Nambeshe (Manjiya e Mbale, n'abalala.

Abaagala ebifo mu gavumenti ez'ebitundu abamu beewandiisizza dda ku kkaadi ya NUP nga muno mulimu n'omubaka wa Bukoto East, Florence Namayanja eyeewandiisizza okuvuganya ku kifo kya Meeya wa Masaka City. Abalala abavuganyiza ku kkaadi ya NUP ku bifo bya disitulikiti kwe kuli ne Ssentebe wa Wakiso Matia Lwanga Bwanika.

Omubaka Medard Lubega Sseggona era nga y'omu ku balooya ba Bobi Wine mu musango guno, bwe yabadde abuuza Kagombe (eyali Ssaabawandiisi w'ekibiina kya NURP) ebibuuzo mu kkooti, yamutadde ku nninga ayatule oba akimanyi nti ebikolwa bye biteeka abantu bonna abeesimbiddewo ku kkaadi ya NUP mu matigga era nga biyinza n'okuvaamu akasambattuko. Kagombe yassizza ebikkoowe ebiwera era oluvannyuma n'ayanukula nti, "Nkimanyi."

NUP BY'EYINZA OKUKOLA

Kigambibwa nti ekimu ku bigumya abeewandiisirizza ku kkaadi ya NUP y'engeri abaddukanya ekibiina gye baafuba okuziba buli muwaatwa gw'ebyamateeka mu kukyusa erinnya ly'ekibiina n'okukyusa obukulembeze okubukwasa Bobi Wine.

Kyokka bammemba b'ekibiina abalala bagamba nti ensala ne bw'evaayo ng'eraga nti ekibiina kyakyusa erinnya mu bukyamu, basobola okujulira ne bakwatirira embeera nga n'akalulu bwe katambula. Essuubi lyabwe liri nti bwe bajulira, kifuuka kizibu eri kkooti okuwa ensala esazaamu ababaka abawerako abanaaba bayiseemu ku kkaadi ya NUP.

Embeera nayo bagisuubira okuba ng'ekkakkanye ng'akkabbinkano k'ebyobufuzi kawedde nga n'abali mu musango tebakyalina nsonga lwaki bagulemerako nnyo.

Kyokka ate abamu ku bakulembeze mu kibiina bagamba nti beetaaga okulowooza ku "Plan B" nga buli we basimbye omuntu wa NUP bawandiisizaako ne mmemba w'ekibiina omulala nga yeesimbawo talina kibiina. Ababala kino bagamba nti mu mbeera enzibu nga kkooti esazizzaamu NUP, baba balinawo omuntu waabwe asobola okuweebwa obuwagizi bw'ekibiina kyonna kubanga tewabaawo mukisa mulala gwa kuddamu kuwandiisa baagala bifo ebyo.

Mu "Plan B" eno erowoozebwako, bammemba abagikkiririzaamu bagamba nti ensala ya kkooti bw'evaayo ng'ekkiriza ekibiina okugenda mu maaso n'emirimu gyakyo, abantu be banaaba bawandiisizza okuvuganya nga tebajjidde mu bibiina baakuva mu lwokaano bawagire abalina kkaadi za NUP era ekyo bakiraba ng'ekigenda n'okwongera ebbugumu mu nkambi z'abanaaba bavuganyiza ku kkaadi ya NUP.

Kyokka kino nakyo kiriko enkalu kubanga buli aneewandiisa yeetaaga okusooka okusasula obukadde 3 mu kakiiko k'ebyokulonda era be banassaawo (dangerous substitute) mu mbeera gy'oyinza okuyita "okwerinda ssi buti" ekibiina kye kirina okubasasulira ensimbi ezo, pulaani eyo bw'eba ya kussibwa mu nkola.

Balooya bye bagamba

Isaac Ssemakadde: Oba gubasinze tekikosa ba Bobi kubanga balina omukisa mu mateeka okujulira mu kkooti ejulirwamu baddeko ey'oku ntikko.

Oli bw'ajulira ebisaliddwaawo kkooti ya wansi birindako okussibwa mu nkola. Kyokka okulonda kwo tekuyimirira. Byonna we biriggweera ng'ebyokulonda byaggwa dda.

Evans Ochieng: Kkooti bw'esalawo nti NUP yakyusa obukulembeze mu bukyamu kitegeeza byonna ebikoleddwa bukya Bobi atwala NUP biba bisaziddwaamu.

Looya Jamil Mpiima eyeesimbyewo ku kaadi ya NRM, Lubaga South: Bwe gusinga Bobi aba NUP bafuuka butereevu ba ‘independent' noolwekyo basigala mu lwokaano. Wabula obukulembeze bwa Bobi ku kibiina buba tebukyaliwo.

Abdallah Kiwanuka looya wa NUP: Okusinziira ku Kibalama bye yayogedde biraga nti yakakiddwa teyeesaliddewo ku lulwe. Yawadde obujulizi kumuduumizi w'amagye Gen David Muhozi nti yamutwala e Mbale nga teyeesaliddeewo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts