Sunday, September 20, 2020

Omutaka Walusimbi alagidde olukiiko lw'ekika okukitemera empenda eziyingiza ssente

Omutaka Walusimbi alagidde olukiiko lw'ekika okukitemera empenda eziyingiza ssente

Bino yabyogedde kawungeezi ka lunaku lw'eggulo bwe yabadde aggalawo omusomo gw'okubangula abali ku lukiiko luno nga gwabadde ku La Grande Hotel e Bwaise- Kawempe mu Kampala-Kyadondo n'agamba nti enteekateeka zino zaakuwonya abalidda mu mitambo gy'ekika kino mu myaka egijja obutalindanga kusabiriza ssente okuva mu bazzukulu okuddukanya emirimu gy'ekika n'agamba nti kino kirina okukoma ku mulembe guno.

"Bajjajjaffe bateeka ennono ebika byaffe kwebitambulira naye omulembe gukyuse ng'olukiiko luno lulina okuteekawo amakubo aganaayamba okuyimirizaawo ekika kino era enkola y'okusabiriza Abazzukulu ensimbi okuddukanya emirimu mulina okulaba ng'ekoma ku mulembe gwaffe guno," Omutaka Walusimbi bwe yategeezezza.

Daniel Ssempala nga ye Katikkiro w'ekika kino omuggya yayanjulidde banne ensonga enkulu ssatu ze balina okuteekako essira okuli okutumbula obumu wakati mu bazzukkulu n'okunyweza entebe y'Obwa Walusimbi nga muno mulimu okukuuma obutaka bw'ekika kino.

"Mulina okwewaayo okuweereza ekika n'omutima gumu awatali kugamba nti okolera muntu gundi. Tulina okuteekawo enteekateeka okuwandiisa abazzukulu n'okuteekawo kkooti ezitawulula enkaayana mu kika nga Ssabasajja Kabaka bwe yalagira," Ssempala bwe yagambye.

Abasomesa mu musomo guno kwabaddeko Edward Naserenga ng'ono ye Mumyuka ow'okubiri owa Katikkiro w'ekino nga yabasomesezza ebyo byebasuubirwamu ate Henry Lubwama nga ye w'ebyensimbi n'okuteekerateekera ekika yasomeseza banne ku ngeri gyebayinza okuteeka mu nkola ebyo byebateekeddwa okukola.

Bakuganyizza ebirowoozo ku nsonga ez'enjawulo era nga buli omu yawereddwa ensawo entungise ey'okutekangamu ensimbi za Walusimbi era buli kitongole nekiragirwa okutandika okubaga enteekateeka gyebinagoberera omwaka ogujja.

Enkyukakyuka mu bukulembeze bw'ekika kino mu June 2020,Omutaka Walusimbi bweyalonda Ssempala okudda mu bigere bya Ying. William Ssebaggala era mu July 2020 Ssempala n'ayanjula Olukiiko lwanakola nalwo ng'omusomo guno gwagendereddwamu okubalambika mu nkola y'emirimu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts