Thursday, September 24, 2020

Omuyimbi Pia Pounds yeekokkodde abooluganda lwe

Omuyimbi Pia Pounds yeekokkodde abooluganda lwe

OMUYIMBI Pia Pounds alangidde famire ye olw'obutavaayo kumuwagira ng'ate abantu abalala abatali baaluganda lwe bamulabamu obusobozi ne batuuka n'okugaana okubaawo ng'atongoza oluyimba lwe olwa ‘Tupaate' ku Amare gardens e Kabalagala.

Pounds ekyamuviiriddeko okukaawa bw'ati kwekuba nti ku mukolo gwonna tekwabadde waaluganda lwe n'omu okuviira ddala ku bazadde abamuzaala 'paka' ku bagandabe olw'okuba tebagaala by'ayimba n'ennyambala ye era n'abasuubiza nti alina okutuuka gy'alaga oba baagala oba tebagaala.

Pounds yategeezezza nti musanyufu nnyo olw'okuba ne 'management' empya ekulemberwa Husseim n'agamba nti yamuwonya okukubwanga abawagizi obucupa nga baloowooza nti yali mujja wa Rema mu biseera we yakolerako n'omuyimbi Eddy Kenzo bwe baali tebannaba kwawukana.

Ono yawerekedwaako bayimbi banne okwabadde Grenade, Slick Stuart, Publicity e Nateete, Sheilah Gashumba n'abalala era ng'ono yasoose kugabula abawagizi be emisito gy'ennyama saako n'emyenge egy'ebbeeyi n'oluvannyuma n'abakuba omuziki gwe gwonna okuva ku nkadde.

 

Bya Lawrence Mukasa.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts