Friday, September 11, 2020

Omuzannyi w'ensambaggere awasizza omuzungu n'akudaalira abafere ba laavu

Omuzannyi w'ensambaggere awasizza omuzungu n'akudaalira abafere ba laavu

Bya Fred Kisekka

OMUZANNYI w'ensambaggere Ramathan Walujjo ‘Jajja Walu' awonye okugwa mu masiga bwa wasizza omuzungu ne yeewana bwawonye bannayuganda abazze bamufera omukwano.

Walujjo 28, ku ntandikwa ya wiiki eno  yakubye ebirayiro ne Sophie Marie Armim enzalwa ya Girimaani bwe bamaze emyaka ebiri nga bapepeya.

Bakubye ebirayiro mu kanisa ya Heilig Chreuz Kirchie esangibwa mu kibuga Obabayern e Girimaani ku mukolo ogwabaddeko abantu ab'olubatu ng'obumu ku bukwakulizo obwatekebwaawo okutangira abantu obutakwatibwa ssenyiga omukambwe owa corona.

Bagatiddwa omusumba Ruth Nun era wano Walujjo weyasinzidde nakuddaalira bannayuganda abazze bamufere omukwano n'okumukuula ensimbi ze.

"Nkomawo e Uganda na muzungu era ndabula abazze banneepikira ku luno ndi wakubayuza bulindaminyira, ne baza Katonda anyambye n'ampa omubeezi antegeera kuba amponyeza bannauganda abafere b'omukwano" Walujjo bwe yategezezza Bukedde.

Walujjo yafulumye Uganda ku ntandikwa ya March w'omwaka guno okwolekera ekibuga Bankok ekya Thailand gye yalina enwana ezenjawulo mu kiseera nga Uganda tenagenda ku muggalo ng'eno gye yavudde okwolekera e Girimaani muninkini we gyabeera.

Yasembye okuzannyira wano omwaka oguwedde ku lulwana  lwa Golola ne Semata olwali ku Freedom City era asinze kumanyiki lwa linnya lye ‘Walu w'ebikonde' atali Geoffrey Walusimbi eyali ssita wa Cranes.

Wa buzito bwa ‘welter' mwe yakazannya enwana 13 kwawangudde 11 n'okukubwaamu biri nga n'olumu azannya ebikonde mwalina enwana satu zona zawangudde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts