Kino kikanze abazadde n'abasomesa nga bagamba nti kiyinza okubeera ekizibu okusasula ebisale by'essomero ne ssente z'ebigezo mu kiseera kye kimu.
Minisitule y'ebyenjigiriza eweze okukyalira abayizi ku masomero, empaka z'emizannyo ezigatta amasomero, okukugira abayizi okukuhhaana n'ebirala. Wabula, minisita w'ebyenjigiriza ebya waggulu mu ggwanga, JC Muyingo yategeezezza Bukedde nti abayizi abali mu masomero ga UPE ne USE abo gavumenti esasula sente zaabwe ez'ebigezo era yamaze dda okulagira zituuke mu UNEB kyokka abali mu masomero amalala balina okusasula ezaabwe.
Muyingo yagambye nti, gavumenti yaakukwatirako amasomero gonna aga gavumenti n'ag'obwannannyini mu bintu ebimu nga; okuwa abayizi masiki bbiri buli omu, okutendeka abasomesa n'abakozi b'essomero ku nkyukakyuka ezireeteddwa Corona kyokka ekitundu ekisinga obunene kya muzadde.
Ssaabawandiisi w'ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU, Filbert Baguma yategeezezza Bukedde nti, olw'embeera eriwo, abazadde bayinza okukaluubirirwa okusasula ebisale by'essomero ne ssente z'ebigezo mu kiseera kye kimu n'asaba gavumenti okubaako ky'ekola okulaba ng'embeera egonjoolwa.
Mu nteekateeka minisitule gye yafulumizza abayizi batandika ttaamu eyookubiri nga October 15, 2020 olwo bawummule okumala wiiki ssatu. Ebigezo bya PLE bbijja kukolebwa nga March 30 ne 31. Ebya S4 bitandika March 1, 2020 ate S6 bitandike nga April 12, 2021.