Wednesday, September 16, 2020

Van Persie ne Van der Sar be bansikirizza okwegatta ku ManU - Van de Beek

Van Persie ne Van der Sar be bansikirizza okwegatta ku ManU - Van de Beek

Omudaaki Donny van de Beek ayatudde nti bannansi banne abaaliko mu ManU baamuwaanira ttiimu eno naye kye yavudde tasibaamu kugyegattako ng'emutuukiridde.

Van de Beek yaguliddwa pawundi obukadde 47 ng'asuubira okutandika omupiira gwe ogw'amaanyi ogusooka mu ManU ng'ettunka ne Crystal Palace ku Lwomukaaga.

Yagambye nti, "Van Persie, Edwin van der Sar ne Darley Blind bantendera ebirungi ebiri mu ManU nti eringa ggulu lya ku nsi. Nange bwe bantuukirira kye nnava sisibaamu."

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts