Thursday, October 1, 2020

Aba Ruparelia Foundation badduukiridde abaana abataliiko mwasirizi e Mulago

Aba Ruparelia Foundation badduukiridde abaana abataliiko mwasirizi e Mulago

Ekibiina ky'obwanakyewa ekya  ‘'Ruparelia Foundation''  kidduukiridde abaana mu ddwaliro e Mulago bwe kiwaddeyo ‘ampa' 240  ziyambe mu kukuuma obuyonjo bw'abaana abali mu waada yabwe mu ddwaliro lino.

Akulira ekibiina kino Naiya Ruparelia agambye nti kino kikoleddwa okuyamba abaana bano okuba abasanyufu. ‘'Bano baana bato. Kirugi nti bangi bagezaako okulwanirira obulamu bwabwe'' bwe yategeezezza.

Yagambye nti ekibiina kino kibadde kigabira abaana bano ampa buli myezi esatu naye waliwo esuubi nti bajja kuzibagabiranga buli mwezi era nga bongera okuzibunyisa ne mu malwaliro amalala.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts