Be basse kuliko Named Ssebaggala ne Andrew Asiimwe. Abasobodde okwemulula kuliko Mayende Kamaadi ne
Sentebe w'abasuubuzi abakolera e South Sudan Erias Mugagga ategeezezza Bukedde nti abasajja abali mu ngoye ezabulijjo baazingirizza mmotoka zino be bawamba abaazibaddemu ku Lwokubiri akawungeezi.
Omu yabatoloseeko n'adduka abalala ne babatwala mu kibira. Baatandise okukosesa essimu z'abantu be bawambye okukubira bannaabwe ne babasaba pawundi za Sudan obukadde busatu.
Balabye tebazibaweereza omu ne bamutta. Bwe batandise okukuba owookubiri ne bamwasa omutwe olwo abadde asigaddewo naye n'adduka ne bamuwereekereza amasasi kyokka tegamukutte era asimattuse.