Abatuuze abawangaalira mu mugotteko gw'omu Nsooba - Mulago wamu n'abayizi ba Good Samaritan Primary School bafunye akamwenyumyenyu ku matama aba Rupaleria Foundation bwe babazimbidde kaabuyonjo ey'omulembe.
Ssente ezeeyambisiddwa okuzimba kabuyonjo eno ze zimu kw'ezo ezaava mu mpaka z'emisinde gy'embuzi ezimanyiddwa ennyo nga 'Goat Race' nga zino zaaliwo mwaka guwedde e Munyonyo.
Rajiv Rupaleria, dayirekira wa Rupaleria agamba nti ekigendererwa kya kutumbula buyonjo mu kitundu kino era talina kubuusabuusa nti abantu wamu n'abayizi bajja kuganyurwa byansusso mu nteekateeka eno.
Essomero lya Good Samaritan Primary school lirimu abayizi of 500 nga bano bambi baabowe babadde tebalina kaabuyonjo.