Friday, October 9, 2020

Ab'e Jokolera baloopye omusamize abakolako effujjo

Ab'e Jokolera baloopye omusamize abakolako effujjo

BYA WASSWA B. SSENTONGO

ABATUUZE b'oku kyalo Jokolera ekisangibwa mu ggombolola y'e Nangabo mu disitulikiti y'e Wakiso basabye abakulembeze okuvaayo okubataasa ku musamize ayitiridde okubawemula  n'okubayita emirambo.

Kiddiridde abafumbo okuli Ssaalongo Yiga James ne mukyala we, Slyvia Nakabugo okulumiriza omusamize Umaru Kakooza okubakolako effujjo olw'okugaana okumuguza poloti nga yatuuka n'okwonoona oluzzi lwabwe.

Abafumbo Yiga ne Nakabugo (wakati) ne Najjuma (ku ddyo) abalumiriza omusamize Kakooza (ku kkono) okubakolako effujjo.

Bano baategeezezza nga Kakooza bwe baamuleeta ng'omupangisa kyokka kati abatiisatiisa n'okubammokolera agagambo agawemula ssaako okubayita emirambo egitambula. Ate Mary Najuma 72, ne Patrick  Wasswa balumirizza omusamize Kakooza okubakolako effujjo omuli n'okubabba ssente zaabwe nga ye nnamukadde Najjuma amulumiriza okwagala okumukwata.

Wabula Kakooza bwe yatuukiriddwa yakkaatirizza nga baliraanwa be bwe bali emirambo era ne yeewuunya n'omukadde amugamba nti yayagala okumusobyako kyokka nga yali amubanja ssente ze ate ye n'alumiriza n'okugula ekifo kya Ssaalongo kyokka n'alemerawo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts