Okwewandiisa kuno okwatandika nga September 21, kwabadde kwakuggwa ku Lwokuna nga October 1, 2020, kyokka olw'obungi bw'abaagala ebifo baayongeddeyo ennaku endala nnya okutuuka ku Mmande nga October 5, 2020.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa, ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga, Simon Byamukama kyategeezezza nti beesanze ng'abantu abavuganya ku bifo mu disitulikiti ne City ebiwera 146 bangi abataasobose kukolwako.
Kyokka Byabakama yalabudde nti ennaku ennya bwe zinaggwaako ezaatandise ku Lwokutaano, tewajja kubeerawo kwongezaayo kulala.
Bassentebe ba disitulikiti, bammeeya ba City, bammeeya ba munisipaali, bammeeya ba divizoni ne bakkansala abatuula ku nkiiko ezo beewandiisiza ku bitebe bya disitulikiti.
Ate bassentebe b'amagombolola, bassentebe ba Town Council ne bassentebe ba divizoni awamu ne bakkansala abatuula ku nkiiko ezo beewandiisiza ku bitebe bya ssaza okuva ku ssaawa 3:00 ez'oku makya okutuuka ku 11:00 ez'olweggulo buli lunaku.